YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 16

16
Okuzuukira kwa Yesu
(Laba ne Mat 28:1-8; Luk 24:1-12; Yow 20:1-10)
1Olunaku olwa Sabbaato bwe lwaggwaako, Mariya Magudaleena ne Salome ne Mariya nnyina Yakobo, ne bagula ebyobuwoowo, balyoke bagende basiige omulambo gwa Yesu.
2Ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali nga yaakavaayo, ne bagenda ku ntaana. 3Awo ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?” 4Ejjinja eryo lyali ddene nnyo. Naye bwe beetegereza, ne balaba nga liyiringisiddwa, ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
5Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku ludda olwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru, ne bawuniikirira. 6N'abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira. Munoonya Yesu Omunazaareeti eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde. Mulabe, kino kye kifo we baabadde bamutadde. 7Mugende mubuulire abayigirizwa be nga ne Peetero kw'ali, nti: ‘Abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”#Laba ne Mat 26:32; Mak 14:28
8Awo ne bafuluma, ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga baakwatibwa ensisi n'okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu n'omu, kubanga baali batidde.
ENFUNDIKIRA ENDALA EY'EDDA
(16:9-20)
Yesu alabikira Mariya Magudaleena
(Laba ne Mat 28:9-10; Yow 20:11-18)
[9Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba. 10Ebyo bwe byaggwa, Ye yennyini Yesu n'atuma abayigirizwa be okutwala obubaka bwa Katonda obw'emirembe gyonna obw'okulokola abantu, babubunye mu nsi yonna,okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.#16:9-20 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina nfundikira eno eri mu nnyiriri zino [9-20]. 11Naye bwe baawulira nti Yesu mulamu, era nti Mariya Magudaleena amulabye, ne batakkiriza.
Yesu alabikira abayigirizwa babiri
(Laba ne Luk 24:13-35)
12Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira babiri ku bo nga balaga mu kyalo. Yali afaanana mu ngeri ndala. 13Awo ne baddayo, ne babuulira bannaabwe. Naye bo ne batakkiriza.
Yesu alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu
(Laba ne Mat 28:16-20; Luk 24:36-49; Yow 20:19-23; Bik 1:6-8)
14Oluvannyuma, Yesu n'alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu, nga batudde balya. N'abanenya olw'obutakkiriza bwabwe, n'olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza bigambo by'abo abaamulaba ng'amaze okuzuukira. 15Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mutegeeze abantu bonna Amawulire Amalungi.#Laba ne Bik 1:8 16Buli akkiriza era n'abatizibwa, alirokolebwa, naye atakkiriza, omusango gulimusinga.
17“Abakkiriza balikola ebyamagero bino: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi ku bantu; balyogera mu nnimi ze batayiganga; 18singa balikwata emisota, era singa balinywa ekintu kyonna ekitta, tebalibaako kabi. Balikwata ku balwadde, abalwadde abo ne bawona.”
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Laba ne Luk 24:50-53; Bik 1:9-11)
19Awo Mukama Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda.#Laba ne Bik 1:9-11 20Awo abayigirizwa be ne bagenda ne bategeeza abantu wonna wonna Amawulire Amalungi. Mukama n'ababeeranga, era n'akakasanga obubaka bwabwe ng'abakozesa ebyamagero.]#16:9-20 Ebiwandiiko ebimu eby'edda birina enfundikira eno endala ennyimpi, mu bimu ng'eyongerwa ku eyo eri mu nnyiriri [9-20], oba ng'edda mu kifo ky'eyo. Enfundikira eyo ennyimpi ye eno: [9 “Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba. 10 Ebyo bwe byaggwa, Ye yennyini Yesu n'atuma abayigirizwa be okutwala obubaka bwa Katonda obw'emirembe gyonna obw'okulokola abantu, babubunye mu nsi yonna, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.”]

Currently Selected:

MARIKO 16: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in