MARIKO 14
14
Olukwe olw'okutta Yesu
(Laba ne Mat 26:1-5; Luk 22:1-2; Yow 11:45-53)
1Mu kiseera ekyo, waali wakyabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, zituuke. Bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka baali mu kukola lukwe lwa kukwata Yesu, bamutte.#Laba ne Kuv 12:1-27 2Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
Yesu asiigibwa omuzigo e Betaniya
(Laba ne Mat 26:6-13; Yow 12:1-8)
3Awo Yesu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde, alya, mu kiseera ekyo omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo. N'asaanukula eccupa eyo, omuzigo n'agufuka ku mutwe gwa Yesu.#Laba ne Luk 7:37-38 4Naye abamu ku baaliwo, ne basunguwala. Ne bagambagana nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa bwe gutyo? 5Gubadde guyinza okutundibwa, ne guvaamu ensimbi ezisoba mu denaari#14:5 denaari: Laba ebinnyonnyola ku 6:37. ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu.” Bwe batyo omukazi ne bamunenya.
6Kyokka Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, lwaki mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi. 7Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, era buli lwe mwagala, muyinza okubayamba. Naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.#Laba ne Ma 15:11 8Omukazi ono akoze ky'ayinza, omubiri gwange agusiize omuzigo ogw'akawoowo nga sinnafa, n'aguteekerateekera okuziikibwa. 9Era mazima mbagamba nti wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
Yuda akkiriza okulyamu Yesu olukwe
(Laba ne Mat 26:14-16; Luk 22:3-6)
10Awo Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu, ng'ayagala okulyamu Yesu olukwe, amuweeyo gye bali. 11Bakabona bwe baawulira ky'ayagala okubakolera, ne basanyuka, era ne basuubiza okumuwa ensimbi. Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
Yesu alya Embaga awamu n'abayigirizwa be
(Laba ne Mat 26:17-25; Luk 22:7-14,21-23; Yow 13:21-30)
12Ku lunaku olusooka olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?”
13Awo Yesu n'atuma babiri ku bo, n'abagamba nti: “Mulage mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere. 14Era mugambe nnannyini nnyumba omuntu oyo mw'anaayingira, nti: ‘Omuyigiriza agambye nti ekisenge kyange kiruwa, nze n'abayigirizwa bange mwe tunaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’ 15Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mututegekere omwo.”
16Awo abayigirizwa ne basitula, ne balaga mu kibuga. Era ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba. Ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
17Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri. 18Awo bwe baali batudde nga balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe alya nange kaakati, anandyamu olukwe.”#Laba ne Zab 41:9 19Abayigirizwa be ne banakuwala, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Omuntu oyo, ye nze?”
20Yesu n'abaddamu nti: “Ye omu ku mmwe ekkumi n'ababiri, akoza nange mu kibya. 21Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
Ekyekiro kya Mukama waffe
(Laba ne Mat 26:26-30; Luk 22:14-20; 1 Kor 11:23-25)
22Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu n'abawa, n'abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe mubiri gwange.”
23Ate n'akwata ekikopo, era bwe yamala okwebaza Katonda n'abawa bonna ne banywa, 24n'abagamba nti: “Kino gwe musaayi gwange ogunaayiyibwa ku lw'abangi, era ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda.#Laba ne Kuv 24:8; Yer 31:31-34 25Mazima mbagamba nti siryongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa, nga muggya, mu Bwakabaka bwa Katonda.”
26Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti.
Yesu alanga nti Peetero anaamwegaana
(Laba ne Mat 26:31-35; Luk 22:31-34; Yow 13:36-38)
27Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ne zisaasaana.’#Laba ne Zek 13:7 28Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.”#Laba ne Mat 28:16
29Awo Peetero n'amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira nze siikwabulire.” 30Yesu n'amuddamu nti: “Mazima nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu, mu kiro kino kyennyini.”
31Kyokka Peetero n'addamu n'akakasiza ddala nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Yesu mu Getesemaane
(Laba ne Mat 26:36-46; Luk 22:39-46)
32Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nga nze neegayirira Katonda.”
33N'atwalako Peetero ne Yakobo ne Yowanne, n'atandika okutya ennyo n'okweraliikirira. 34N'abagamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde ennaku eyinza n'okunzita! Musigale wano, mukuume.”
35Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Singa kiyinzika, essaawa ey'okubonaabona ereme kuntuukako.” 36Era n'agamba nti: “Kitange, oyinza byonna. Nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona. Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” 37Awo n'ajja, n'asanga Peetero ne Yakobo ne Yowanne nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde okumala essaawa emu bw'eti? 38Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa, kubanga omwoyo mumalirivu, naye omubiri munafu.”
39Era n'agenda ne yeegayirira Katonda mu ngeri ye emu nga bwe yeegayiridde mu kusooka. 40Awo n'ajja nate n'abasanga era nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo. Ne babulwa kye banaamuddamu.
41Bwe yajja omulundi ogwokusatu n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Mulekere awo! Essaawa etuuse! Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi. 42Musituke tugende. Laba, omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
Okukwatibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 26:47-56; Luk 22:47-53; Yow 18:3-12)
43Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga. 44Olwo eyalyamu Yesu olukwe, yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate era mumutwale nga mumunywezezza.”
45Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Muyigiriza!” Era n'amunywegera. 46Awo ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata ne bamunyweza. 47Naye omu ku baali bayimiridde awo, n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona n'amukutulako okutu.
48Awo Yesu n'ababuuza nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo, ng'abajjiridde omunyazi? 49Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo nga njigiriza, ne mutankwata. Naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa biryoke bituukirizibwe.”#Laba ne Luk 19:47; 21:37
50Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka.
51Waaliwo omuvubuka eyali tayambadde kirala kyonna okuggyako olugoye, lwe yali yeebikkiridde. Abantu ne bamukwata ng'agoberera Yesu. 52Kyokka omuvubuka oyo n'abeesumattulako, n'adduka bwereere, ne basigaza lugoye.
Yesu mu maaso g'olukiiko
(Laba ne Mat 26:57-68; Luk 22:54-55,63-71; Yow 18:13-14,19-24)
53Awo Yesu ne bamutwala ewa Ssaabakabona. Bakabona abakulu bonna n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne batuula mu lukiiko.
54Peetero yagoberera Yesu, ng'amwesuddeko ebbanga, n'ayingirira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, n'atuula n'abakuumi, n'ayota omuliro. 55Olwo bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, kyokka ne batabuzuula. 56Waaliwo bangi abaawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza, obujulizi bwabwe ne butakwatagana.
57Era abamu ne basituka, ne bawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza nti: 58“Twamuwulira ng'agamba nti: ‘Ndimenyawo Essinzizo lino eryazimbibwa abantu, ate mu nnaku ssatu, ndizimbawo eddala, nga terizimbiddwa bantu.’ ”#Laba ne Yow 2:19 59Naye obujulizi bwa bano nabwo ne butakwatagana.
60Awo Ssaabakabona n'ayimirira bonna we bamulabira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina kyakuddamu? Kiki ky'ogamba ku bino bye bakulumiriza?” 61Kyokka Yesu n'asirika, n'ataddamu. Ssaabakabona n'ayongera okumubuuza nti: “Gwe Kristo, Omwana wa Katonda atenderezebwa?”
62Awo Yesu n'addamu nti: “Ye nze. Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira mu bire eby'eggulu.”#Laba ne Dan 7:13
63Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa abalala? 64Muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde. Mmwe mulowooza mutya?” Awo bonna ne basalira Yesu omusango nti asaanidde okuttibwa.#Laba ne Leev 24:16
65Abamu ne batandika okumuwandira amalusu, ne bamubikka ku maaso, era ne bamukuba ebikonde nga bagamba nti: “Tulage akukubye.” Awo abakuumi ne bamutwala nga bamukuba empi.
Peetero yeegaana Yesu
(Laba ne Mat 26:69-75; Luk 22:56-62; Yow 18:15-18,25-27)
66Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bawala abaweereza ewa Ssaabakabona, n'ajja. 67Bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amwetegereza, n'agamba nti: “Naawe wali n'Omunazaareeti oyo, Yesu.” 68Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Ky'ogamba sikimanyi era sikitegeera.” AwoPeetero n'ava mu luggya, n'alaga mu lukuubo olufuluma ebweru. Awo enkoko n'ekookolima.
69Awo omuwala oli n'addamu okulaba Peetero, n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Omusajja ono ye omu ku bagoberezi ba Yesu.” 70Kyokka Peetero ne yeeyongera okwegaana.
Era nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bamugamba nate nti: “Ddala oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga naawe oli Mugalilaaya.” 71Kyokka Peetero n'atandika okwekolimira era n'okulayira nti: “Nze simanyi muntu oyo gwe mwogerako!”
72Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika, n'akaaba amaziga.
Currently Selected:
MARIKO 14: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.