1
MARIKO 14:36
Luganda Bible 2003
Era n'agamba nti: “Kitange, oyinza byonna. Nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona. Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
Compare
Explore MARIKO 14:36
2
MARIKO 14:38
Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa, kubanga omwoyo mumalirivu, naye omubiri munafu.”
Explore MARIKO 14:38
3
MARIKO 14:9
Era mazima mbagamba nti wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
Explore MARIKO 14:9
4
MARIKO 14:34
N'abagamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde ennaku eyinza n'okunzita! Musigale wano, mukuume.”
Explore MARIKO 14:34
5
MARIKO 14:22
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu n'abawa, n'abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe mubiri gwange.”
Explore MARIKO 14:22
6
MARIKO 14:23-24
Ate n'akwata ekikopo, era bwe yamala okwebaza Katonda n'abawa bonna ne banywa, n'abagamba nti: “Kino gwe musaayi gwange ogunaayiyibwa ku lw'abangi, era ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda.
Explore MARIKO 14:23-24
7
MARIKO 14:27
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ne zisaasaana.’
Explore MARIKO 14:27
8
MARIKO 14:42
Musituke tugende. Laba, omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
Explore MARIKO 14:42
9
MARIKO 14:30
Yesu n'amuddamu nti: “Mazima nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu, mu kiro kino kyennyini.”
Explore MARIKO 14:30
Home
Bible
Plans
Videos