YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 13

13
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kw'Essinzizo
(Laba ne Mat 24:1-2; Luk 21:5-6)
1Awo Yesu bwe yali ng'ava mu Ssinzizo, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja n'ebizimbe ebyewuunyisa!”
2Yesu n'amuddamu nti: “Ebizimbe bino ebinene obiraba? Mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna galisuulibwa wansi.”
Okuzibuwalirwa n'okuyigganyizibwa
(Laba ne Mat 24:3-14; Luk 21:7-19)
3Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, ng'atunuulidde Essinzizo, Peetero ne Yakobo ne Yowanne ne Andereya, ne bamubuuza mu kyama nti: 4“Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti ebyo byonna binaatera okubaawo?”
5Awo Yesu n'abagamba nti: “Mwerinde waleme kubaawo ababuzaabuza. 6Bangi balijja nga beeyita nze, era balibuzaabuza bangi. 7Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
8“Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
9“Naye mwekuume, kubanga balibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Balibakubira mu makuŋŋaaniro. Era muliyimirira mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, okubatuusaako obubaka bwange.#Laba ne Mat 10:17-20; Luk 12:11-12 10Enkomerero nga tennatuuka, Amawulire Amalungi gateekwa okumala okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna.
11“Era bwe babakwatanga ne babawaayo mu mbuga z'amateeka, temweraliikiriranga kye munaayogera, naye mwogeranga ekyo Katonda ky'abawa okwogera mu kaseera ako. Ebigambo bye mulyogera tebiriba byammwe, wabula bya Mwoyo Mutuukirivu.
12“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa. 13Era nammwe abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.#Laba ne Mat 10:22
Ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa
(Laba ne Mat 24:15-28; Luk 21:20-24)
14“Bwe muliraba ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa nga kiteekeddwa we kitandibadde (oyo asoma bino ategeere), olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.#Laba ne Dan 9:27; 11:31; 12:11 15Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.#Laba ne Luk 17:31 16Era aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye. 17Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo nga balibonaabona nnyo! 18Mwegayirire Katonda, bino bireme kubaawo mu biseera eby'obutiti.
19“Mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ebintu, okutuusa kati. Era tewaliddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.#Laba ne Dan 12:1; Bik 7:14 20Era singa Katonda teyakendeeza ku nnaku ezo, ez'okubonaabona, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu be, ennaku ezo yazikendeezaako.
21“Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano,’ oba nti: ‘Ali wali,’ temukkirizanga. 22Abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka. 23Naye mwerinde, mbabuulidde byonna nga bukyali.
Okutuuka kw'Omwana w'Omuntu
(Laba ne Mat 24:29-31; Luk 21:25-28)
24“Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka.#Laba ne Yis 13:10; Ezek 32:7; Yol 2:10,31; 3:15; Kub 6:12 25Emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.#Laba ne Yis 34:4; Yol 2:10; Bik 6:13
26“Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa.#Laba ne Dan 7:13; Kub 1:7 27Alituma bamalayika mu njuuyi zonna ennya ez'ensi, okukuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
Ekiyigirwa ku muti omutiini
(Laba ne Mat 24:32-35; Luk 21:29-33)
28“Mulabire ku muti omutiini muyige. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. 29Mu ngeri ye emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo.
30“Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. 31Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Tewali amanyi lunaku na ssaawa
(Laba ne Mat 24:36-44)
32“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde Mwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.#Laba ne Mat 24:36 33Mwerinde, mutunule, kubanga temumanyi kiseera kirindirirwa we kirituukira.
34“Kino kifaananako n'ekyo omuntu ky'akola ng'agenda okutambula olugendo. Bw'aba ava awaka, aleka akwasizza buli muddu we omulimu gw'anaakola, n'omuggazi n'amulagira okukuuma.#Laba ne Luk 12:36-38 35Kale mutunule, kubanga temumanyi nnannyini maka w'alijjira, oba mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba mu makya, 36aleme kubagwako bugwi, n'abasanga nga mwebase. 37Kye ŋŋamba mmwe, era kye ŋŋamba n'abalala bonna nti: Mutunule!”

Currently Selected:

MARIKO 13: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in