YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 50

50
1Yosefu ne yeesuula ku kitaawe nga bw'akaaba era nga bw'amunywegera. 2Yosefu n'alagira abaweereza be abasawo, okukaza omulambo gwa kitaawe. Abasawo ne bakaza omulambo gwa Yisirayeli. 3Ne bamala ennaku amakumi ana nga bagukaza, ze nnaku ze bamala bulijjo okukaza omulambo. Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bamukungubagira.
4Ennaku ez'okumukungubagira bwe zaggwaako, Yosefu n'agamba ab'omu nnyumba ya kabaka nti: “Mbeegayiridde muŋŋambire kabaka nga 5kitange bwe yandayiza nti: ‘Ndi kumpi okufa. Mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanaani, mw'olinziika.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange era ndikomawo.”#Laba ne Nta 47:29-31
6Kabaka n'addamu nti: “Genda oziike kitaawo, nga bwe yakulayiza.” 7Awo Yosefu n'agenda okuziika kitaawe. Abaweereza ba kabaka bonna, n'abakungu b'omu lubiri lwe, n'abakungu bonna ab'omu nsi y'e Misiri, ne bagenda wamu ne Yosefu. 8Ab'omu nnyumba ya Yosefu bonna, ne baganda be, n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna, ne bagenda naye. Abaana baabwe abato, n'endiga n'embuzi n'ente zaabwe, bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni. 9N'agenda n'abaali mu magaali, n'abeebagadde ku mbalaasi, ne kiba ekibiina kinene nnyo.
10Bwe baatuuka mu kifo awawuulirwa eŋŋaano, eky'e Atadi emitala wa Yorudaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi nnyo. Yosefu n'amala ennaku musanvu ng'akaabira kitaawe. 11Abatuuze b'omu Kanaani bwe baalaba abantu abo, nga bakaabira mu kifo awawuulirwa eŋŋaano eky'e Atadi, ne bagamba nti: “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya Abeli Misurayimu.#50:11 Abeli Misurayimu: Mu Lwebureeyi “Abel Mizraim,” ekitegeeza “Okukaaba kw'Abamisiri.”Kiri mitala wa Yorudaani.
12Abaana ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13Ne basitula omulambo gwe, ne bagutwala mu nsi ya Kanaani, ne baguziika mu mpuku ey'omu nnimiro y'e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, Aburahamu gye yagulira awamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu.#Laba ne Bik 7:16
14Yosefu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe.
Yosefu agumya baganda be
15Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne bagamba nti: “Oboolyawo Yosefu ajja kutukyawa, yeesasuze ekibi kye twamukola.” 16Ne batumira Yosefu nga bagamba nti: “Kitaffe bwe yali nga tannafa, 17yatugamba tukusabe nti: ‘Sonyiwa omusango n'ekibi kya baganda bo, kubanga kye baakukola kibi nnyo.’ Era kaakano tukwegayiridde, tusonyiwe ekibi kye twakola, ffe abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yosefu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebyo.
18Awo baganda be era ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti: “Tuutuno tuli baddu bo.” 19Naye Yosefu n'abagamba nti: “Temutya. Siyinza kweteeka mu kifo kya Katonda. 20Mmwe mwayagala okunkola ekibi, naye Katonda n'ayagala kiveemu ekirungi okuwonya obulamu bw'abantu abangi, abakyali abalamu kati, olw'ekyo ekyabaawo. 21Temubaako kye mutya. Nja kubalabiriranga mmwe, n'abaana bammwe abato.” Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo eby'ekisa.
Okufa kwa Yosefu
22Yosefu n'abeeranga mu Misiri wamu n'ab'ennyumba ya kitaawe, n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23N'alaba abaana n'abazzukulu ba Efurayimu. Era n'alera ku baana ba Makiri, mutabani wa Manasse. 24Yosefu n'agamba baganda be nti: “Ndi kumpi okufa, naye Katonda talirema kubalabirira mmwe n'okubaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.” 25Awo Yosefu n'alayiza abaana ba Yisirayeli ng'abagamba nti: “Katonda talirema kubalabirira, era mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”#Laba ne Kuv 13:19; Yos 24:32; Beb 11:22 26Bw'atyo Yosefu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamukaza, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri.

Currently Selected:

ENTANDIKWA 50: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in