YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI Ennyanjula

Ennyanjula
Erinnya Okuva e Misiri lyogera ku kintu ekikulu mu byafaayo by'eggwanga ly'Abayisirayeli. Ekinyumizibwa mu kitabo kino, kwe kuva kw'Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri gye baafugirwanga obuddu. Ekitabo kirimu ebitundu ebikulu bina: (1) Okununulibwa kw'Abeebureeyi mu buddu; (2) olugendo lwabwe okutuuka ku Lusozi Sinaayi; (3) endagaano Katonda gye yakola n'abantu be ku Lusozi Sinaayi mwe yabaweera amateeka ag'okutambulizangako obulamu bwabwe mu by'empisa ezisaanidde, ne mu by'obufuzi bw'eggwanga lyabwe ne mu by'eddiini; (4) okuzimba n'okuyooyoota ekifo ky'Abayisirayeli eky'okusinzizangamu, era n'amateeka agafuga bakabona n'engeri y'okusinzangamu Katonda.
N'okusingira ddala ekitabo kino kittottola ebyo Katonda bye yakola okununula abantu be abaafugibwa obuddu, n'abafuula eggwanga erisuubira ebirungi gye bujja.
Omuntu ayogerwako ennyo mu kitabo kino, ye Musa, omusajja Katonda gwe yalonda okukulembera abantu be okuva mu nsi y'e Misiri.
Ekitundu ekisinga okumanyika mu kitabo kino, ky'ekyo ekirimu ebiragiro bya Katonda ekkumi, mu mutwe ogw'amakumi abiri.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Abayisirayeli bateebwa okuva mu Misiri 1:1–15:21
a. Abaddu mu Misiri 1:1-22
b. Okuzaalibwa kwa Musa n'obuto bwe 2:1–4:31
c. Musa ne Arooni mu maaso ga kabaka w'e Misiri 5:1–11:10
d. Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako 12:1–15:21
Okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku Lusozi Sinaayi 15:22–18:27
Amateeka n'endagaano 19:1–24:18
Eweema Entukuvu n'amateeka agafuga okusinza 25:1–40:38

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in