OKUVA E MISIRI 4
4
Katonda akozesa Musa ebyamagero
1Musa n'addamu nti: “Naye tebalinzikiriza, era tebaliwuliriza kye mbagamba, kubanga baligamba nti: ‘Mukama teyakulabikira!’ ”
2Mukama n'amugamba nti: “Kiki ky'okutte mu ngalo zo?” Musa n'addamu nti: “Muggo.”
3Mukama n'agamba nti: “Gusuule wansi.” Musa n'agusuula wansi, ne gufuuka omusota, n'agudduka. 4Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo.” Musa n'agolola omukono gwe, n'akwata omusota, ne gufuuka omuggo mu ngalo ze. 5Mukama n'agamba nti: “Kola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, akulabikidde.”
6Mukama n'agamba nti: “Teeka omukono gwo mu kikondoolo kyo.” Musa n'ateeka omukono gwe mu kikondoolo kye. Bwe yaguggyaamu, nga guliko ebigenge, nga mweru ng'omuzira. 7Mukama n'agamba nti: “Omukono gwo guzzeemu mu kikondoolo kyo.” Musa n'aguzzaamu. Bwe yaguggyaamu, nga mulamu ng'ebitundu ebirala eby'omubiri gwe. 8Mukama n'agamba nti: “Bwe batalikukkiriza, oba bwe batalimatizibwa kyamagero ekisoose, balikkiriza kino ekyokubiri. 9Awo bwe batalikkiriza byamagero bino byombiriri, era bwe baligaana okuwuliriza by'ogamba, olisena ku mazzi g'omugga n'ogayiwa ku lukalu. Amazzi ago galifuuka omusaayi ku lukalu.”
10Musa n'agamba Mukama nti: “Ayi Mukama, sibangako mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange, kubanga soogera mangu, era ntamattama.”
11Mukama n'amugamba nti: “Ani yakola akamwa k'omuntu? Ani amufuula kasiru, oba kiggala? Ani amuwa okulaba oba okuba muzibe? Si ye Nze Mukama? 12Kale kaakano genda, ndikusobozesa okwogera, era ndikutegeeza by'olyogera.”
13Musa n'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, tuma omuntu omulala.”
14Awo Mukama n'asunguwalira Musa, n'agamba nti: “Muganda wo Arooni Omuleevi taliiwo? Mmanyi ng'ayinza okwogera obulungi. Era wuuyo ajja okukusisinkana, era bw'anaakulaba, ajja kusanyuka. 15Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesanga mwembiriri okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga. 16Arooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe ku lulwe oliba nga Katonda, ng'omutegeeza ky'anaayogera. 17Twala omuggo guno, gw'olikozesa ebyamagero.”
Musa addayo mu Misiri
18Awo Musa n'addayo eri Yetero kitaawe wa mukazi we, n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, ka nzireyo eri baganda bange mu Misiri, ndabe oba nga bakyali balamu.” Yetero n'agamba Musa nti: “Genda mirembe.”
19Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.” 20Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo nabo mu nsi y'e Misiri, ng'akutte omuggo, Katonda gwe yamugamba okutwala.
21Musa bwe yali ng'addayo mu Misiri, Mukama n'amugamba nti: “Tolemanga kukolera mu maaso ga kabaka ebyamagero byonna bye nkuwaddeko obuyinza okukola. Naye ndikakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu kugenda. 22Olimugamba nti Nze Mukama ŋŋamba nti: ‘Yisirayeli ye mwana wange omuggulanda. 23Nkugambye nti leka omwana wange agende ampeereze, naye ggwe n'ogaana. Kale nja kutta mutabani wo omuggulanda.’ ”#Laba ne Kuv 12:29
24Mu lugendo nga basiisidde we banaasula, Mukama n'asisinkana Musa, n'ayagala okumutta. 25Awo Zippora muka Musa, n'akwata ejjinja ery'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!” 26Mukama n'aleka Musa. Olw'omukolo ogwo ogw'okukomola, Zippora kyeyava agamba Musa nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!”
27Mukama n'agamba Arooni nti: “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi olutukuvu, n'amunywegera. 28Musa n'abuulira Arooni ebyo byonna Mukama bye yamutuma, n'ebyamagero byonna, bye yamulagira okukola. 29Musa ne Arooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli. 30Arooni n'ayogera byonna Mukama bye yagamba Musa, Musa n'akola ebyamagero mu maaso g'abantu. 31Abakulembeze ne bakkiriza, era bwe baawulira nti Mukama yajja eri Abayisirayeli n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bakutamya ku mitwe gyabwe, ne basinza.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 4: LB03
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.