YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 11

11
Yuda Makkabeewo awangula Lisiya
(Laba ne 1 Bamak 4:26-35)
1Bwe waayitawo ekiseera kitono, Lisiya omukuza wa kabaka era eyamulinako oluganda, era nga ye alabirira obwakabaka, n'awulira ebibaddewo. 2N'asunguwala nnyo n'akulembera abaserikale emitwalo munaana ab'ebigere n'abeebagadde embalaasi bonna be yalina. N'ajja okulwanyisa Abayudaaya, nga ky'agenderera kwe kufuula Yerusaalemu ekibuga ky'Abayonaani. 3Essinzizo lyali lijja kusoloozebwako omusolo nga bwe kiri ku masinzizo gonna ag'ab'amawanga amalala. N'ekifo kya Ssaabakabona kyali kijja kutundibwanga buli mwaka. 4Lisiya yeesiga nnyo eggye lye ery'enkumi n'enkumi ez'abeebagazi b'embalaasi n'enjovu ze ekinaana, ne yeerabira obuyinza bwa Katonda. 5Bwe yatuuka mu Buyudaaya, n'azinda ekigo eky'okwerindiramu eky'e Betisuuri, ekyesudde kilomita nga amakumi asatu okuva e Yerusaalemu.
6Yuda ne basajja be bwe baawulira nga Lisiya azinze ebigo byabwe, bo n'abantu bonna ne baaziirana era ne bakaaba amaziga, nga basaba Mukama abaweereze malayika omulungi okubawonya. 7Yuda ye yali omubereberye okukwata ebyokulwanyisa, era n'akubiriza n'abalala okumwegattako baweeyo obulamu bwabwe okuyamba Bayudaaya bannaabwe. Bonna ne bagenda nga bamalirivu. 8Naye baali baakatambulako katono okuva e Yerusaalemu ne balaba nga bakulembeddwa omuntu eyeebagadde embalaasi, ng'ayambadde ebyambalo ebyeru, era ng'akutte ekyokulwanyisa ebya zaabu. 9Amangwago bonna ne beebaza Katonda ow'ekisa. Ne baguma omwoyo, si kulwanyisa bantu bokka, naye n'ensolo enkambwe, wadde n'ebisenge eby'ekyuma. 10Ne beeyongera mu maaso nga beetegese okulwana era n'oyo Mukama ow'ekisa gwe yatuma okulwanira ku ludda lwabwe n'agenda nabo. 11Awo ne bafubutuka ng'empologoma ne balumba abalabe, ne babattamu omutwalo gumu mu lukumi ab'ebigere, n'abeebagazi b'embalaasi lukumi mu lukaaga. Abalala bonna ne badduka. 12Bangi ku bo baddukanga bamaze okusuula ebyokulwanyisa era nga baliko ebiwundu. Ne Lisiya yennyini okwewonya, yadduka ng'omutiitiizi.
Lisiya akola endagaano n'Abayudaaya
(Laba ne 1 Bamak 6:56-61)
13Lisiya teyali musiru. Bwe yalowooza nga bwe yali awanguddwa, n'amanya nti Abayudaaya tebayinza kuwangulwa, kubanga Katonda ow'obuyinza abalwanirira. 14Kyeyava abatumira ababaka ng'abasuubiza okutereeza byonna mu bwenkanya, n'okuwooyawooya kabaka abe wa mukwano nabo. 15Makkabeewo bwe yekkaanya n'alaba ng'ekyo kijja kugasa abantu be, n'akkiriza ebyo Lisiya bye yasaba, kubanga kabaka yakkiriza ebyo byonna Makkabeewo bye yasaba Lisiya mu buwandiike.
16Ebbaluwa Lisiya gye yawandiikira Abayudaaya yali esoma bw'eti: “Nze Lisiya mpandiikidde mmwe Abayudaaya nga mbalamusa. 17Ababaka bammwe Yowanne ne Abusaalomu be mwatuma, bankwasizza ekiwandiiko kyammwe, ne bansaba ntuukirize ebyo ebikirimu. 18Nnyanjulidde kabaka ebyo byonna ebiteekwa okumwanjulirwa, era naye n'akkiriza okukola byonna ebisoboka. 19Bwe munaanyiikira okuba abawulize, nange gye bujja nja kufubanga okubakolera ebinaabagasa. 20Buli ekikwata ku bino ndagidde ababaka bammwe n'abange be ntumye bakinnyonnyolagane nammwe. 21Mubeere mirembe. Mpandiise ng'ennaku z'omwezi amakumi abiri mu nnya, omwezi Diyosikorintiyo, mu mwaka kikumi mu ana mu munaana.”
22Ebbaluwa ya kabaka, yo yali egamba bw'eti: “Nze kabaka Antiyooko mpandiikira ggwe oweekitiibwa Lisiya nga nkulamusa. 23Kaakano nga kitange bw'afudde, n'agenda okubeera ne balubaale, njagala abantu ab'omu bwakabaka bwange beekolere ku byabwe nga tewali abatawaanya. 24Nawulira nti Abayudaaya tebaagala kugoberera mpisa za Kiyonaani nga kitange bwe yali ayagala bakole, naye nti baagala kugoberera mpisa zaabwe, era nti basaba tubakkirize okukwata obulombolombo bwabwe. 25Nga bwe njagala n'ab'eggwanga eryo babeere mu ddembe, nsazeewo nti Essinzizo lyabwe libaddizibwe, era babe ba ddembe okugoberera empisa za bajjajjaabwe. 26Nsaba obategeeze ekyo kye nsazeewo, era obakakase nga bwe ndi mukwano gwabwe basobole okwekolera ku byabwe nga tebalina kye beeraliikirira.”
27Ate kabaka n'awandiikira Abayudaaya bw'ati: “Nze Kabaka Antiyooko mpandiikira ab'olukiiko olukulu olw'Abayudaaya, n'Abayudaaya mwenna. Mbalamusizza. 28Oba muli bulungi, nange ekyo kye mbaagaliza. Nange ndi mulamu. 29Menelaawo yantegeeza nti mwagala okuddayo ewammwe, mulabirire ebyammwe. 30Kale abo abanaaddayo ewaabwe ng'olw'amakumi asatu olw'omwezi gwa Kisantiko terunnayita, tubakakasa baleme kubaako kye beeraliikirira. 31Muli ba ddembe okukwata amateeka agafuga ebyokulya era n'amateeka gammwe amalala nga bwe mwakolanga edda. Era tewali Muyudaaya anaabonerezebwa olw'ebyo by'asobya olw'obutamanya. 32Ntumye Menelaawo abagumye emitima. 33Mubeere mirembe. Mpandiise nga kkumi omwezi gwa Kisantiko, mu mwaka kikumi mu ana munaana.#11:33 omwaka ogwe 148: Gwe mwaka ogwe 164 nga Kristo tannazaalibwa.
Abarooma bawandiikira Abayudaaya
34Abarooma nabo ne bawandiikira Abayudaaya ebbaluwa esoma bw'eti: “Ffe Kwinto Memmiyo ne Tito Maniyo, ababaka b'Abarooma, tuwandiikira mmwe Abayudaaya nga tubalamusa. 35Naffe tukkaanyiza ddala n'ebyo byonna Lisiya alina oluganda ku kabaka, bye yabakkiriza mmwe. 36Kaakano tugenda mu Antiyookiya. Kale ebyo bye yajuliza kabaka, mubyekkaanye n'obwegendereza, mututumire mangu omuntu, tusobole okubibanjulirayo obulungi. 37N'olwekyo temulwa kututumira abo abanaatutegeeza bye musazeewo. 38Mubeere mirembe. Tuwandiise ng'ennaku z'omwezi kkumi na ttaano, omwezi Kisantiko, mu mwaka kikumi mu ana mu munaana.”

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 11: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in