YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 10

10
Okutukuza essinzizo
(Laba ne 1 Bamak 4:36-61)
1Yuda Makkabeewo n'abagoberezi be ne beddiza Essinzizo n'ekibuga Yerusaalemu nga bakulemberwa Mukama. 2Ne bamenyawo ebifo eby'ebitambiro abagwira bye baali bazimbye mu luggya omukuŋŋaanira abantu, era ne bazikiriza n'ebifo ebirala ebyali bizimbiddwa okusinzizaamu balubaale. 3Ne batukuza Essinzizo ne bazimba alutaari empya. Ne bakuma omuliro omuggya, gwe baakoleeza nga bakuba amayinja ku gannewaago. Ne bawaayo ekitambiro omulundi ogusooka bukya wayitawo myaka ebiri. 4Ne booteza obubaane, ne bakoleeza ettaala, ne bateekawo emigaati emitukuvu. Bwe baamala okukola ebyo, ne bavuunama ku ttaka, ne basaba Mukama baleme kuddamu kugwirwa kabi ng'ako. Ne bamwegayirira nti bwe baliddamu okwonoona ababonerezese kisa, aleme kubaleka mu mikono gya ba mawanga malala abavuma Katonda. 5Ne batukuza Essinzizo ku lunaku olw'amakumi abiri mu ettaano mu mwezi gwa Kisuleevu, olunaku lw'omwezi lwennyini abagwira lwe baalyonoonerako. 6Ne bajaguliza ennaku munaana nga bwe bakola ku mbaga ey'Ensiisira nga bajjukira nga mu bbanga ttono eriyise embaga eyo baagikuza nga babungeetera mu nsozi ne mu mpuku ng'ebisolo eby'omu ttale. 7Naye kaakano nga bakutte amatabi g'emiti aga kiragala, n'ensansa n'emiggo egitimbiddwako amakoola, bagenda bayimbira Mukama eyabasobozesa okutukuza Ekifo kye Ekitukuvu. 8Ne bayisa ekiragiro ky'abantu bonna era ne basemba nti eggwanga ly'Abayudaaya lyonna likuzenga ennaku ezo buli mwaka. 9Ebyo bwe bityo bwe byali mu nnaku ezaasembayo mu bulamu bwa Antiyooko ayitibwa Epiifane.
Putoleme Makurooni yetta
10Kaakano ka tunyumye ebyakolebwa Antiyooko Ewupatori, mutabani w'omusajja oyo atassaamu Katonda kitiibwa, era twogere mu bimpimpi akabi akaava mu ntalo.#Laba ne 1 Bamak 6:17 11Ono bwe yafuuka kabaka, n'alonda omusajja ayitibwa Lisiya n'amuwa okulabirira obwakabaka n'okuba omufuzi wa Koyilesiriya ne Fenikiya, 12ng'adda mu kifo kya Putoleme Makurooni eyali omufuzi omubereberye okuyisa obulungi Abayudaaya. Yalaba nga baali babonyeebonye nnyo, n'ayagala abawe emirembe. 13N'ekyavaamu mikwano gya kabaka ne bamuwawaabira ewa Ewupatori nti yalyamu ensi ye olukwe, kubanga yali aleseewo ekizinga ky'e Kipuro, kabaka kye yali amuwadde okulabirira, n'agenda eri Antiyooko Epiifane. Kale bonna baagambanga nti ddala yalyamu ensi ye olukwe. Yalaba takyalina kitiibwa kisaanira kifo kye, ne yeewa obutwa n'afa.
Yuda awangula ab'e Yidumeya
(Laba ne 1 Bamak 5:1-8)
14Gorugiya bwe yafuuka omufuzi w'ekitundu Yidumeya, n'abeeranga n'eggye ly'abaserikale abapangise, era emirundi mingi n'awakulanga olutalo ku Bayudaaya. 15N'ab'omu Yidumeya nga bwe baalina ebigo eby'okwerindiramu ebigumu, baalumbanga Abayudaaya. Era baayanirizanga abagobeddwa e Yerusaalemu, buli kiseera ne baleetawo entalo ezitaggwa. 16Yuda Makkabeewo ne basajja be bwe baamala okusaba Mukama abayambe, ne bagenda balumba ebigo by'ab'omu Yidumeya eby'okwerindiramu. 17Ne balumba n'amaanyi mangi. Ebigo ne babiwamba, ne batta buli gwe baasanganga. Abantu bonna be batta ne bawera emitwalo ebiri n'okusoba.
18Naye abalala nga kenda ne baddukira mu bigo bibiri ebigumu ennyo, nga balina byonna bye beetaaga okulwana. 19Yuda n'alekawo Simooni ne Yosefu ne Zaakayo n'eggye erimala okuzingiza abo. Ye n'agenda mu bifo ebirala gye yali asinga okwetaagibwa. 20Naye abamu ku basajja ba Simooni baalina amaddu g'ensimbi. Abantu abaali mu bigo ne babagulirira. Bwe baabawa durakuma emitwalo musanvu,#10:20 Durakuma (drachma) emitwalo musanvu: Ze pawunda nga 140 ez'Abangereza oba doola nga 280 ez'Abamerika. ne baleka abalabe abamu okubomba. 21Makkabeewo bwe yawulira kye baakola, n'ayita abakulu mu magye, n'awawaabira abantu abo ogw'okutunda baganda baabwe nga bata abalabe baabwe okubalwanyisa. 22Abo n'abatta olw'okulyamu bannaabwe olukwe, era amangwago n'awamba ebigo byombi. 23Yawangula entalo ze yalwana. Lwe yalumba ebigo ebibiri yatta abantu abaasoba mu mitwalo ebiri.
Yuda awangula Timoteewo
24Awo Timoteewo eyali awanguddwa Abayudaaya mu kusooka, n'akuŋŋaanya eggye ddene ery'abaserikale abapangise, era n'abeebagazi b'embalaasi bangi be yaggya mu Asiya, n'ajja okulumba Buyudaaya agiwambe. 25Naye bwe baali basembera okumpi, Makkabeewo ne be yali nabo ne beegayirira Mukama. Ne besiiga evvu mu mutwe, ne bambala ebikutiya, 26ne bavuunama ku madaala, ne basaba Katonda abayambe okulwanyisa abalabe baabwe nga bwe yasuubiza mu Mateeka.
27Bwe baamala okwegayirira Katonda, ne bakwata ebyokulwanyisa byabwe, ne batambula ebbanga eriwerako okuva mu kibuga, ne bayimirira kumpi n'omulabe. 28Enkeera ku makya ennyo amagye gombi ne gatandika okulwanagana. Okuwangula kw'eggye ly'Abayudaaya kwali kwesigamye ku kwesiga Mukama ne ku buzira bwabwe. Naye abalabe baabwe ng'okuwangula okwabwe kwesigamye ku kulwanyisa bukambwe. 29Okulwana bwe kwanyinnyintira ennyo, abalabe ne balaba abasajja bataano abalabika obulungi, era abeebagadde embalaasi ezirina enkoba eza zaabu ezisikibwa okuzivuga, bano nga bavudde mu ggulu era nga be bakulembedde eggye ly'Abayudaaya. 30Baali beetoolodde Makkabeewo nga bamutaasa n'ebyokulwanyisa byabwe aleme kubaako kabi, eno nga bwe bawandagaza obusaale n'eraddu mu balabe. Abalabe ne basoberwa era ne basamaalirira. Mu kavuvuŋŋano ako ne bagwa wansi. Abayudaaya ne babakkako ne babatemaatema. 31Ne babattamu emitwalo ebiri mu bitaano ab'ebigere n'abeebagadde embalaasi lukaaga.
32Timoteewo n'addukira mu kigo eky'e Gezeri ekikuumibwa ennyo, ekyali kikulirwa muganda we Kereya. 33Yuda ne basajja be ne bakyetooloola okukizingiza okumala ennaku nnya nga basanyuka. 34Naye abaakirimu ne beesiga obugumu bwakyo, ne baleekaana nga boogera ebigambo ebivuma era ebiwemula. 35Mu matulutulu ag'olunaku olwokutaano, abasajja amakumi abiri ab'omu ggye lya Yuda, ng'obusungu bujula okubayuza olw'ebivumo, ne bawalampa ekigo n'obuzira, ne batta buli muntu gwe baasangiriza. 36Mu kiseera kyekimu, n'abalala ne bawalampa ekisenge ku ludda olulala olw'ekigo, ne bakuma omuliro ku minaala ne ku miryango. Bangi ku baali babavuma ne bafa omuliro. Ekibinja ekyokusatu ne kimenya enzigi, ne kiggulira eggye lya Makkabeewo lyonna okuwamba ekibuga. 37Ne batta Timoteewo eyali yeekwese mu luzzi. Ne batta ne muganda we Kereya era ne Apolofaane. 38Bwe baamala okukola ebyo, ne bayimba ennyimba okwebaza Mukama eyabakwatirwa ekisa ekyenkanidde awo era eyabawa obuwanguzi

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 10: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in