2 ABAMAKKABEEWO 9
9
Mukama abonereza Antiyooko
(Laba ne 1 Bamak 6:1-7; 2 Bamak 1:11-17)
1Mu kiseera ekyo kye kimu Antiyooko yali akomawo okuva mu Perusiya ng'awootedde. 2Bwe yagendayo n'ayingira mu kibuga Perisepoli, n'agezaako okunyaga eby'omu ssabo n'okuwamba ekibuga. Naye abantu baayo ne bakwata ebyokulwanyisa ne bagoba eggye lye. Antiyooko n'awalirizibwa okudduka ng'aswadde. 3Bwe yatuuka mu Ekibatana ne bamubuulira ebyatuuka ku magye ga Nikanori ne Timoteewo. 4N'asunguwala nnyo, n'ayagala okwesasuliza ku Bayudaaya ekiruyi ky'okuwangulwa kwe. Kyeyava alagira omuvuzi w'ekigaali kye obutayimirira nga tannatuuka Yerusaalemu. Kyokka Katonda yali yamaze dda okumusalira omusango, kubanga mu kwekulumbaza kwe yagamba nti: “Bwe nnaatuuka e Yerusaalemu, nja kukifuula ntaana za Buyudaaya.” 5Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Mukama Katonda wa Yisirayeli alaba byonna n'amulwaza endwadde etewonyezeka era eterabika. N'awulira obulumi obuyitirivu mu lubuto era obumusalaasala munda. 6Ekyo kye kibonerezo ekyamusaanira, kubanga naye yalumya nnyo abalala, n'ebibonyoobonyo ebya buli ngeri. 7Naye kino mu kifo ky'okumukendeeza kyamwongera bwongezi kwekulumbaza, na busungu obw'okwewerera Abayudaaya. N'alagira omuvuzi ayongere ku mbiro. N'ekyaddirira n'ava mu kigaali kye ekyali ku misinde, ne yeewuttula wansi ennume y'ekigwo, buli nnyingo y'omubiri gwe n'elumizibwa. 8Omuntu ow'olwetumbu olutagambika, eyali alowooza nti ayinza okufuga amayengo g'ennyanja, n'okupima mu minzaani ensozi engulumivu, kati n'agwa kya bugazi ku ttaka, ne bamusitulira ku katanda. Bonna ne bamulabirako nga Katonda bw'alina obuyinza. 9Okumanya omusajja ono atassaamu Katonda kitiibwa yabonerezebwa, ne mu maaso ge ne muvaamu envunyu, era ng'akyali mulamu mu bulumi, obwekitalo, omubiri gwe ne guvunda. Ekivundu kye yawunya ne kikola bubi ab'eggye bonna. 10Ono mu kaseera katono akaakulembera, eyali alowooza nti ayinza okukwata ku mmunyeenye ez'omu ggulu, yabulwa asobola okumusitula, olw'ekivundu ekitagumiikirizika.
Antiyooko abaako by'asuubiza
(Laba ne 1 Bamak 6:8-17)
11Antiyooko bwe yawulira obulumi obungi obwa buli kaseera olw'ekibonerezo Katonda kye yamuleetera, ne yeemenya mu mutima, n'alekayo amampaati ge. 12Bwe yalemererwa okugumira ekivundu kye, n'agamba nti: “Buli muntu asaanidde okuwulira Katonda, n'obuteerowooza nti yenkana ne Katonda.”
13Awo omusajja ono omubi n'asaba Katonda, eyali tajja kumukwatirwa kisa. 14Era ekibuga Yerusaalemu kye yali yeeyuna agende akizikirize era akifuule amalaalo g'entuumu z'emirambo, kaakati n'asuubiza okukiwa eddembe. 15Abayudaaya mu bbanga ttono emabegako be yali alowooza nti tebasaanira na kuziikibwa, wabula bo n'abaana baabwe okusuulirwa ebisolo n'ebinyonyi, n'asuubiza okubenkanyankanya n'abatuuze b'omu Antiyookiya. 16Era Essinzizo lye yali anyazeemu ebintu mu kusooka, kati n'asuubiza okuliwunda n'ebirabo eby'omuwendo era aliteekemu ebikozesebwa ebisinga obulungi ku byalimu okusooka, era ye yennyini asasulire ebiweebwayo olw'ebitambiro. 17N'agattako n'okusuubiza nti ajja kufuuka Muyudaaya, atambule buli wantu ng'agenda ategeeza abantu nga Katonda bw'ali ow'obuyinza.
Antiyooko awandiikira Abayudaaya
18Antiyooko ng'aterebuse olw'obulumi bwe obutaweera, kubanga Katonda yamubonereza nga bw'asaanira, n'awandiikira Abayudaaya ng'abeegayirira mu bbaluwa erimu bino nti:
19“Nze Kabaka Antiyooko, mmwe abatuuze abalungi mbawandiikidde nga mbaagaliza obulamu n'essanyu n'eddembe. 20Mba musanyufu singa mmwe n'abaana bammwe muba obulungi, era nga byonna bibagendera bulungi. 21Weewaawo ndi mulwadde, naye mbajjukira era mbaagala. Nga nkomawo okuva mu Perusiya nagwirwa obulwadde obw'amaanyi. Ne ndowooza nti nsaanye okutegeka ebifa ku bulungi bwa bonna. 22Siterebuse n'akatono, era ddala nnina essuubi lingi nti nja kussuuka. 23Naye nzijukira nga kitange buli lwe yabanga agenda n'eggye lye okutabaala mu bitundu eby'engulu, yalekanga alonze omusika. 24Nga ky'agenderera, nti bwe wabaawo ekiguddewo embagirawo, oba amawulire amabi agafuniddwa, abantu b'omu matwale ge ne bateeraliikirira, kubanga baba bamanyi gwe yalekera obwakabaka. 25Era mmanyi nti abafuzi b'ensi ezeetoolodde obwakabaka bwange n'ezibuli okumpi, bulijjo batunula nkaliriza balabe buli ekiyinza okugwawo. Kyenvudde nteekawo mutabani wange Antiyooko okunsikira ku bwakabaka. Emirundi mingi nga nnambula ebitundu eby'engulu, namulaga bangi mu mmwe, ne mmubanjulira. Era kaakano mmuwerezza kopi y'ebbaluwa eno. 26Kale mbasaba era mbeegayirira mujjukire ebirungi bye nabakolera mwenna awamu ne buli omu ku lulwe, musigale nga mukolagana bulungi nange era ne mutabani wange. 27Kubanga neesiga nti naye anaabafugisanga buntubulamu na kisa nga nze bwe mbadde nkola bulijjo.”
28Bw'atyo omutemu oyo era eyavuma Katonda n'abonaabona nnyo nga bwe yabonyaabonya abalala. N'afiira mu nsozi mu nsi eteri yiye, ng'ali mu buyinike. 29Filipo omu ku mikwano gye n'atwala omulambo gwe eka. Naye olw'okutya mutabani wa Antiyooko, n'addukira e Misiri eri Putoleme Filometori.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 9: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.