YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 12

12
Abayudaaya b'e Yoppa battibwa
1Bwe baamala okukola endagaano eno, Lisiya n'addayo eri kabaka, n'Abayudaaya ne badda ku mirimu gyabwe egy'okulima. 2Naye abamu ku bafuzi ab'ebitundu nga Timoteewo ne Apolloniyo mutabani wa Genaayo ne Yeronimo ne Demofooni, ng'otaddeko ne Nikanori omuduumizi w'amagye g'e Kipuro amapangise, ne batabaleka kubeera mirembe.
3Mu kiseera ekyo ab'e Yoppa ne bakola eky'obukambwe ku Bayudaaya ab'omu kibuga kyabwe. Ne beefuula nga mikwano gyabwe, ne babayita okusaabala nabo wamu ne bakazi baabwe n'abaana mu maato ge baali bategese. 4Ab'omu kibuga bonna nga bwe baasalawo okukola kino, Abayudaaya nabo ne batabaako kye beekekamu, ne bakkiriza okugenda mu mutima ogw'enkolagana ennungi. Naye bwe baatuuka eyo mu nnyanja abantu b'e Yoppa ne basuula Abayudaaya bonna ebikumi bibiri mu nnyanja.
5Yuda olwawulira ekikolwa ekyo eky'obukambwe ku Bayudaaya banne, n'abuulirako basajja be. 6Bwe baamala okwegayirira Katonda omulamuzi omwenkanya, ne balumba abatemu. Ekiro mu nzikiza ne bateekera omuliro ku mwalo, ne bookya amaato gonna, era ne batta buli eyali yeekweseemu. 7Yuda bwe yamala okukola ekyo n'agenda, naye ng'amaliridde okudda okusaanyizaawo ddala ab'omu kibuga ekyo.
8Yuda n'awulira nti n'ab'e Yamuniya baali bategeka okutta Abayudaaya mu kibuga ekyo. 9Kyeyava alumba Yamuniya ekiro, n'akuma omuliro ku mwalo ne ku maato gaabwe. Ennimi z'omuliro ne zirengerwa ne mu Yerusaalemu, ekyesudde kilomita amakumi asatu.
Obuwanguzi bwa Yuda mu Gileyaadi
(Laba ne 1 Bamak 5:9-54)
10Yuda ne basajja be bwe baali baakatambulako kilomita ng'emu n'ekitundu okuva e Yamuniya nga bagenda okulwanyisa Timoteewo, ne balumbibwa Abawarabu abasoba mu nkumi ettaano nga balina n'abeebagadde embalaasi bitaano. 11Olutalo lwali lwa maanyi. Kyokka Katonda n'abayamba ne baluwangula. Abawarabu ne basaba okukolagana ne Yuda mu mukwano, nga bamusuubiza okumuwa ku magana gaabwe n'okumuyamba mu ngeri endala. 12Yuda bwe yalaba ng'enkolagana nabo eyinza okuba ey'omugaso mu ngeri nnyingi, n'akkiriza okukola nabo endagaano ey'emirembe. Ebyo bwe byaggwa, Abawarabu ne baddayo mu nsiisira zaabwe.
13Yuda era yalumba ekibuga ekyanywezebwa ennyo ekiyitibwa Kasipiini nga kyetooloddwa ebigo nga kirimu ab'amawanga amalala agatali gamu. 14Abatuuze baamu olw'okwesiga obugumu bw'ebigo byabwe, n'olw'okusangibwa nga balina emmere nnyingi entereke, ne bajerega Yuda ne basajja be, ne babavuma, ne baboogerera ebivvoola Katonda. 15Naye Yuda n'ababe ne basaba Mukama afuga ebintu byonna, eyamenya ebigo by'ekibuga Yeriko mu budde bwa Yoswa awatali kweyambisa bya kukitomera wadde ekyokulwanyisa. Awo ne balumba ekigo n'amaanyi mangi. 16Olw'okusiima kwa Katonda, ne bawamba ekibuga ekyo. Ne battamu abantu abatabalika, n'ennyanja eriraanyeewo, eweza ng'ekyokuna kimu ekya kilomita obugazi, n'erabika ng'ebooze omusaayi.
Yuda awangula eggye lya Timoteewo
(Laba ne 1 Bamak 5:37-44)
17Yuda ne basajja be bwe baava e Kasipiini, ne batambula kilomita kikumi mu ataano mu bbiri, ne batuuka e Karakisa awaasenga Abayudaaya, kumpi n'Ekibuga Tobu. 18Naye Timoteewo tebaamusangayo, kubanga basanga avuddeyo mu kitundu ekyo, nga talina ky'akozeeyo wabula okulekayo mu kifo ekimu enkambi y'abaserikale ey'amaanyi ennyo. 19Dositeewo ne Sosipateri abakulu mu magye ga Makkabeewo ne balumba enkambi eyo, ne batta abaserikale bonna omutwalo gumu, Timoteewo be yalekamu.
20Awo Makkabeewo n'ayawuzaamu eggye lye, buli kibinja n'akiteekamu anaakikulira, n'ayanguwako okuwondera Timoteewo, eyalina eggye ery'abaserikale emitwalo kkumi n'ebiri ab'ebigere, n'abeebagadde embalaasi lukumi mu bitaano. 21Timoteewo bwe yamanya nti Yuda amuwondera, n'akulembeezaamu abakazi n'abaana n'emigugu, ne balaga mu kibuga ky'e Karinayimu, ekyali ekizibu ennyo okuzingiza wadde okutuukirira olw'obufunda bw'obukubo obutuukayo. 22Naye abalabe bwe baalengera ekibinja ky'eggye lya Yuda ekisooka nga kijja, ne bakwatibwa ensisi olw'okulabikirwa Katonda alaba byonna, ne baduma ne babuna emiwabo, bangi ne bafumitibwa ebitala bya bannaabwe, n'abalala ne bafumitibwa ebyabwe. 23Yuda n'afuba okuwondera abazigu abo, n'abattamu abantu abawera emitwalo esatu. 24Timoteewo yennyini n'akwatibwa ab'ekibinja kya Dositeewo ne Sosipateri. Kyokka n'abeegayirira n'obukujjukujju bungi baleme kumutta, ng'abagamba nti yalina abasibe bangi ab'eŋŋanda zaabwe. Singa ye attibwa, ne bali tebajja kusaasirwa. 25Bwe yamala okukuba obweyamo ng'asuubiza okubaddiza abasibe nga balamu era nga tebaliiko kabi, ne bamuta olw'okuwonya baganda baabwe.
Yuda awangula entalo endala
(Laba ne 1 Bamak 5:45-54)
26Awo Yuda n'alumba ekibuga ky'e Karinayimu n'essabo lya lubaale omukazi Atarigaati, n'attamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, n'azikiriza ekibuga ekyo n'essabo eryo. 27Bwe yamala ekyo, n'alumba ekibuga Efurooni ekigumu ennyo, Lisiya mwe yali n'abantu bangi ab'amawanga agatali gamu. Abavubuka baayo ab'amaanyi ne balwana n'obuzira mu maaso g'ebigo, nga mu byo munda muterekeddwamu ebyokulwanyisa bingi. 28Naye Abayudaaya ne basaba Mukama okubayamba. Obuyinza bwe ne bumenya amaanyi g'abalabe baabwe. Ne bawamba ekibuga, ne batta abantu ng'emitwalo ebiri n'ekitundu.
29Bwe baava eyo, ne balaga e Sikitopoli ekiri mu kilomita kikumi mu abiri okuva e Yerusaalemu. 30Abayudaaya baayo ne babategeeza ng'abantu b'omu kibuga ekyo bwe baali ab'ekisa gye bali, naddala mu biseera ebizibu. 31Bano ne babeebaza era ne babakubiriza babeerenga ba kisa eri Abayudaaya gye bujja. Ne baddayo e Yerusaalemu ng'olunaku olukulu olw'Amakungula lunaatera okutuuka.
Yuda awangula Gorugiya
32Olunaku olukulu olwa Pentekoote nga luwedde, Yuda ne basajja be ne bagenda mangu okulwanyisa Gorugiya, omufuzi w'e Yidumeya.#Laba ne Kuv 23:16 33Naye n'avaayo n'abaserikale enkumi ssatu ab'ebigere, n'abeebagadde embalaasi ebikumi bina. 34Mu lutalo olwo, Abayudaaya abatonotono ne battibwa. 35Naye Omuyudaaya omu ow'e Tobu, omusajja omwebagazi w'embalaasi ow'amaanyi ayitibwa Dositeewo, n'akwata Gorugiya, n'amukulula n'amaanyi mangi, ng'amusika omunagiro, amutwale nga mulamu. Naye omu ku beebagazi b'embalaasi ayitibwa Abuturaako, n'afubutuka, n'atemako Dositeewo omukono. Bw'atyo Gorugiya n'addukira mu kibuga Marisa.
36Mu kiseera ekyo, Abayudaaya abaali baduumirwa Esidiriya baali balwanidde ebbanga ggwanvu, nga bakooye. Yuda kyeyava asaba Mukama ye aba abayamba, era abakulembere mu lutalo. 37Awo Yuda bwe yayimba oluyimba mu lulimi lwe, n'aleekaana okuzzaamu abantu be amaanyi, abaserikale ba Gorugiya ne badduka.
Okusabira abaafiira mu lutalo
38Awo Yuda n'akuŋŋaanya eggye lye, n'alaga mu kibuga Adullamu. Olunaku olw'omusanvu bwe lwali lunaatera okutuuka, ne bakola omukolo ogw'okwetukuza, ng'empisa y'Abayudaaya bw'eri, ne bakuza Sabbaato mu kifo ekyo kyennyini. 39Ku lunaku olwaddirira, Yuda n'agenda ne basajja be okuggyayo emirambo gy'abaafiira mu lutalo, baziikibwe n'ab'eŋŋanda zaabwe. 40Naye mu ngoye za buli omu ku abo abattibwa, ne basangamu akafaananyi ka balubaale b'e Yamuniya, akatakkirizibwa mu mateeka okwambalibwa Omuyudaaya. Bonna ne bamanya nti abantu abo kyebaava battibwa.#Laba ne Ma 7:25 41Awo ne batendereza Mukama omulamuzi omwenkanya ayerula ebikisiddwa. 42Era ne bamusaba ekibi ekyo ekyakolebwa kyerabirirwe ddala. Awo Yuda omusajja omuzira, n'akubiriza abantu okwewala okwonoona, kubanga baali beerabiddeko n'agaabwe ekyatuuka ku basajja abo abaayonoona. 43Era n'asolooza ensimbi mu bantu be ne ziweeza kilo nga bbiri eza ffeeza, n'aziweereza e Yerusaalemu okuzigulamu ekitambiro ekiweebwayo olw'ebibi. Yuda yakola ekikolwa ekyo ekirungi era ekyekitiibwa, kubanga yali akkiriza okuzuukira kw'abafu. 44Singa yali takkiriza nti abafu balizuukira, kyandibadde kya busiru era ekitagasa okubasabira. 45Era kubanga yamanyira ddala nti abafa nga bassaamu Katonda ekitiibwa baliweebwa empeera ebategekeddwa, ekirowoozo ekyo kyali kirungi era nga kissaamu Katonda ekitiibwa. Bw'atyo kyeyava awaayo ekitambiro, abo abaafa balyoke banaazibweko ebibi byabwe.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 12: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in