YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 5

5
1‘‘Naye buno bwe bubonero: ekiseera kirituuka, abantu bonna abali ku nsi ne batabukatabuka nnyo. Ekkubo ery'amazima liribula, era okukkiriza kuliggwaawo mu nsi. 2Ebibi biryeyongera obungi okusinga ku ebyo by'olaba, ne ku bye wali owuliddeko.#Laba ne Mat 24:12 3Eggwanga lino ly'olaba kati erifuga ensi yonna, baliriraba nga lifuuse matongo. 4Ebyo nga biwedde, Mukama Atenkanika bw'aliba akyakuwangaazizza, oliraba ensi eyo ng'etabusetabuse. Enjuba eritandika amangwago okwaka ekiro, n'omwezi gwake emisana. 5Emiti giritonnya omusaayi, amayinja googere, amawanga gatabuketabuke, n'amakubo g'emmunyeenye gakyuke.#Laba ne Hab 2:11 6Kabaka bannansi gwe batayagala, alifuga, era ebinyonyi birisenguka. 7Ennyanja Enfu eribooga ebyennyanja. Ekiro abantu bonna baliwulira eddoboozi abangi lye batamanyi. 8Ensi eryasama mu bifo bingi, ewandule omuliro. Ensolo ez'omu ttale ziriva mu nsiko ne mu bibira. Abakazi balizaala ebikulekule mu biseera byabwe ebya buli mwezi. 9Amazzi amalungi galifuuka ag'omunnyo. Ab'emikwano wonna wonna balirwanagana. Olwo okutegeera kulibula, n'amagezi geekweke. 10Newaakubadde bangi baliganoonya, naye galibulira ddala. Ebibi era n'empisa embi biryeyongera obungi mu nsi. 11Eggwanga erimu liribuuza eddala ery'omuliraano nti: ‘Eyo ewuwo eriyo obwenkanya, wadde abakola ebituufu?’ Lino liriddamu nti: ‘Nedda!’ 12Mu biro ebyo, abantu balisuubira bingi, naye tebalibaako kye bafuna. Balifuba okukola, naye tebalifunamu mugaso. 13Buno bwe bubonero obulaga enkomerero bwe nzikiriziddwa okukubuulirako. Naye bw'onoddamu okwegayirira, n'okaaba amaziga, era n'osiiba okumala ennaku musanvu, ojja kuwulira n'ebisingawo.”
14Awo ne nzuukuka nga nkankana nnyo, ne nzigweramu ddala amaanyi, kumpi kuzirika. 15Naye malayika eyajja okwogera nange, n'ankwata n'anzizaamu amaanyi, n'annyimiriza ku magulu gange.
16Mu kiro ekyaddirira, Falutiyeli omukulembeze w'abantu n'ajja gye ndi, n'ambuuza nti: ‘‘Obadde wa? Era lwaki onakuwadde? 17Tomanyi nga ggwe wakwasibwa okulabirira abantu ba Yisirayeli mu nsi eno gye bali mu busibe? 18Kale golokoka olye. Totwabulira ng'omusumba aleka amagana ge okulumbibwa emisege emikambwe.”
19Ne mmuddamu nti: ‘‘Ndeka, era tonsemberera okumalira ddala ennaku musanvu, olyoke okomewo oluvannyuma.” Bwe yawulira ebyo, n'ava we ndi.
OKULABIKIRWA OKWOKUBIRI
Ezera ayongera okusaba
20Awo ne nsiiba okumala ennaku musanvu nga nkaaba amaziga, era nga nkungubaga, nga malayika Wuriyeeli bwe yandagira. 21Ennaku ezo omusanvu bwe zaggwaako, ne nziramu okubulwa emirembe mu mutima. 22Naye ne nziramu amagezi, ne ntandika okwogera ne Katonda Atenkanika. 23Ne ŋŋamba nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, mu bibira byonna ne mu bimera byonna ku nsi, walondamu omuzabbibu gumu. 24Mu bitundu by'ensi walondamu akatundu kamu. Mu bimuli byonna ku nsi walondamu ekimuli kimu eky'amalanga. 25Wajjuza omugga gumu amazzi okuva mu buziba obw'ennyanja zonna ennene. Mu bibuga byonna ebyali bizimbiddwa, weeyawuliramu kimu: Yerusaalemu. 26Mu binyonyi byonna ebyatondebwa, weerobozaamu kimu: lye jjiba. Era mu nsolo zonna ezaakolebwa, weelobozaamu emu ye ndiga. 27Mu mawanga gonna agatabalika, weeronderamu limu okuba eriryo, n'owa abantu baalyo Amateeka, abantu abalala ge beegomba.
28‘‘Kale lwaki, ayi Mukama, eggwanga eryo erimu walirekera amalala okulikola kye gaagala? Lwaki wasaasaanya abantu bo 29abakkiriza endagaano zo? Lwaki wabaleka okulinnyirirwa abantu abaagaana bye wabasuubiza? 30Oba ng'osunguwalidde abantu bo, ggwe oba obabonereza wennyini.”
Malayika addamu okulabikira Ezera
31Bwe namala okwogera ebyo, malayika eyali azze gye ndi mu kiro kiri ekyasooka, n'akomawo ng'atumiddwa gye ndi. 32N'agamba nti: ‘‘Ntegera amatu mbeeko n'ebirala bye nkuyigiraza.”
33Ne mmugamba nti: ‘‘Yogera Mukama wange.” Ye n'agamba nti: ‘‘Abantu ba Yisirayeli obalumirwa nnyo omwoyo? Ggwe obaagala okusinga Katonda eyabatonda?”
34Ne mmugamba nti: ‘‘Nedda, Ssebo, naye ebyo mbyogedde lwa kunakuwala. Kubanga nsoberwa nnyo buli lwe ngezaako okulowooza ku ngeri Katonda Atenkanika gy'akolamu ebintu bye, wadde okutegeera akatundu obutundu ak'ebyo by'akola.”
35N'anziramu nti: ‘‘Toyinza kubitegeera.” Ne mmubuuza nti: ‘‘Ssebo, lwaki siyinza? Kale lwaki nazaalibwa? Lwaki saafiira mu nda ya mmange, ne siraba kutegana na kubonaabona kwa bantu ba Yisirayeli?”#Laba ne Yob 3:11
36Malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Mbuulira omuwendo gw'abantu abatannaba kuzaalibwa, nkuŋŋaanyiza amatondo g'enkuba agasaasaanye. Ebimuli ebikaze binzirizeemu obulamu. 37Nziguliraawo amaterekero omubeera embuyaga, onsumululiremu embuyaga ezisibiddwamu. Kuba ekifaananyi ky'eddoboozi okindage, nange ndyoke nkuddemu by'obuuza ku kutegana kw'abantu ba Yisirayeli.”
38Ne nziramu nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, ani ayinza okumanya ebintu ebyo, okuggyako Katonda asukkulumye embeera y'abantu? 39Nze omusiru nnyinza ntya okukuddamu ebyo by'ombuuzizza?”
40N'aŋŋamba nti: ‘‘Nga bw'otosobola kukola wadde ekimu ku ebyo bye nkugambye okukola, era bw'otyo bw'otosobola kutegeera Katonda by'ateesa, oba bye yagenderera okubasuubiza nti anaabaagalanga.”
41Awo ne ŋŋamba nti: ‘‘Ayi Mukama, ggwe b'ofaako beebo abalibeerawo ku nkomerero y'ensi? Naye abaatusooka okubaawo baliba batya, wadde ffe, oba abo abalituddirira?”
42N'aŋŋamba nti: ‘‘Okulamula okw'enkomerero ka nkugeraageranye n'enkulungo: nga bw'eteriiko ntandikwa na nkomerero, n'abo abasooka okutuuka baba tebakedde nnyo, n'abajja oluvannyuma baba tebayitiddwako budde.”
43Awo ne ŋŋamba nti: ‘‘Wali tosobola kutondera wamu abantu bonna ab'edda, abaliwo kati n'abalijja, ne babeerawo mu kiseera kye kimu, n'osobola okusala amangu omusango ogw'enkomerero?” 44N'addamu nti: ‘‘Ebitonde tebiyinza kwanguwa okusinga Omutonzi. Ate n'ensi teyandiyinzizza okugyamu bantu bonna, singa baatondebwa omulundi gumu.”
45Awo ne mmugamba nti: ‘‘Naye Ssebo, ng'ate oŋŋambye nti ebitonde byonna ebyali bibaddewo olibizzaamu obulamu omulundi gumu. Oba ng'olwo birisobola byonna okugya mu nsi omulundi ogumu, ne kaakati bisoboka.”
46N'anziramu nti: ‘‘Ekyo kiri ng'okubuuza omukazi azaala abaana ekkumi nti: ‘Lwaki bonna tewabazaala omulundi gumu, mu kifo ky'okuzaala omu omu?’ ”
47Ne mmugamba nti: ‘‘Nedda, Ssebo, ekyo tekyandisobose. Okuzaala kusaana okuyisaawo ekiseera.”
48N'aŋŋamba nti: ‘‘Nange nakola ensi ng'eri ng'enda, esobole okuzaala abantu mu biseera ebigere. 49Etteeka erigamba nti omwana omuto n'omukazi omukadde tebayinza kuzaala, lye nateeka ne ku nsi gye natonda.”
50Awo ne mmugamba nti: ‘‘Ekyo nga bw'okireese ggwe wennyini, ka nkubuuze. Ensi gy'oyogeddeko, ekyali nto, oba esemberedde okukaddiwa?” 51N'anziramu nti: ‘‘Ekyo nnyina w'abaana ayinza okukikuddamu. 52Ggwe mubuuze nti: ‘Lwaki abaana be wazaala oluvannyuma tebaawagguuka ng'abo be wasooka okuzaala?’#Laba ne Nta 6:4; Kubal 13:33 53Ajja kukutegeeza nti abo be yasooka okuzaala ng'akyalina amaanyi ag'obuvubuka, ba maanyi okusinga abo be yazaala ng'agenda akaddiwa era ng'anafuwa. 54Laba nti na mmwe muli batono mu kiwago okusinga abantu ab'emirembe egyasooka. 55Ate abo abalizaalibwa gye bujja, baliba batono okusingawo. Ekyo kiraga nti ebitonde bwe bigenda bikaddiwa, biggwaamu amaanyi ag'obuvubuka.”
Katonda ye alikomya ensi
56Ne mmugamba nti: ‘‘Mukama wange, bw'osiima, nkusaba ombuulire oyo gw'oliyitamu okujja okusalira ebitonde byo omusango.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 5: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in