YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 4

4
Omuntu tayinza kutegeera bya Katonda
1Awo malayika Wuriyeeli, eyantumirwa, n'anziramu nti: 2‘‘Oba nga tosobola kutegeera wadde ebigwawo ku nsi eno, olowooza nti onootegeera ebya Katonda Atenkanika by'akola?” 3Ne mmuddamu nti: ‘‘Weewaawo, Ssebo.” N'ayongera n'aŋŋamba nti: ‘‘Ntumiddwa okukubuuza ebintu bisatu, bibe ng'ekyokulabirako. 4Bw'onooyanukulako wadde ekimu ku byo, nange nja kukuddamu ky'oyagala okumanya, ekifa ku ngeri Katonda gy'akolamu ebintu bye, era nja kukuyigiriza ekireetera emitima okuba emibi.”
5Ne ŋŋamba nti: ‘‘Yogera Ssebo.” Awo n'aŋŋamba nti: ‘‘Kale genda ompimire kilo y'omuliro, ongerere mita y'embuyaga, era onzirizeewo olunaku oluyise.”
6Ne mmuddamu nti: ‘‘Ombuuliza ki ebyo, nga tewali muntu ayinza kubiddamu?” 7Awo n'agamba nti: ‘‘Kale mba kukubuuza nti ku ntobo y'ennyanja eriyo ebisulo bimeka? Oba nti emigga emeka egiyiwa ku mazzi agali wansi w'ensi? Oba nti emigga emeka egiri waggulu mu bbanga? Oba nti emiryango egifuluma emagombe okuyingira mu kifo eky'okwesiima giri ludda wa? 8Wandizzeemu nti: ‘Sikkirirangako wansi w'ensi, wadde emagombe, era sambukangako mu ggulu.’ 9Naye kaakano nkubuuzizza ebifa ku muliro, ku mbuyaga, ne ku lunaku lwe waakayitamu, ebintu by'otoyinza kugamba nti tobirabangako n'otosobola kunziramu. 10Oba nga tosobola kutegeera bintu bye wakuliramu, 11kale amagezi go amatono gayinza gatya okutegeera ebyo Katonda Atenkanika by'akola? Omuntu eyayonoonebwa ensi ennyonoonefu ayinza atya okutegeera ebya Katonda atayinza kwonooneka?”
12Bwe nawulira ebyo, ne neevuunika ku ttaka, ne mmugamba nti: ‘‘Ekyandisinze obulungi bwe butazaalibwa n'okubeera ku nsi eno ejjudde ebibi n'okubonaabona, era nga tetutegeera bintu bwe biri.”
13Malayika n'anziramu, n'agamba nti: ‘‘Olumu natuukako mu kibira, ne mpulira emiti nga gyegeya, 14ne gigamba nti: ‘Mujje, tugende tulwanyise ennyanja tugigobewo, twefunire ebbanga ery'okugezza ekibira.’ 15N'amayengo g'ennyanja nago ne geegeya, ne gagamba nti: ‘Mujje, twambuke, tulwanyise emiti mu kibira, twetwalire ekifo kyagyo.’ 16Naye okwegeya kw'emiti kwafa bwereere, kubanga omuliro gwajja ne gugisaanyaawo. 17Era n'okwegeya kw'amayengo g'ennyanja nakwo kwagwa butaka, kubanga omusenyu gwekiika mu kkubo lyago, ne gugaziyiza okuyitawo. 18Kale singa ggwe obadde omulamuzi, kiruwa ku byo kye wandisalidde okusinga oba okusingibwa omusango?”
19Ne nziramu nti: ‘‘Byombi gwabisinga, kubanga emiti gibeera ku lukalu, n'amayengo gabeera mu nnyanja.” 20N'anziramu nti: ‘‘Olamudde bulungi. Kale lwaki olemeddwa okulamula bw'otyo ebikwata ku ggwe wennyini? 21Kubanga ng'emiti bwe gibeera ku lukalu, amayengo ne gabeera mu nnyanja, n'abantu abali ku nsi basobola kutegeera ebyo byokka eby'oku nsi, era ab'omu ggulu bokka be basobola okutegeera eby'omu ggulu.”#Laba ne Yis 55:8-9; Yow 3:31; 1 Kor 2:14
22Awo ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, nsaba mpeebwe amagezi okutegeera, 23kubanga nayagadde okubuuza si ku ebyo ebifa mu ggulu, wabula ku ebyo ebitutuukako buli lunaku. Lwaki Katonda yaleka Yisirayeli okuvumibwa amawanga amalala? Lwaki eggwanga ly'ayagala, yalireka okuweebwayo mu buyinza bw'amawanga agatamussaamu kitiibwa? Lwaki Amateeka n'endagaano ebyaweebwa bajjajjaffe tebikyalina makulu? 24Lwaki tufa mangu ng'enzige? Lwaki obulamu bwaffe buba bumpi ng'okussa omukka? Lwaki Katonda alowooza nti tetusaanira kukwatirwa kisa? 25Era lwaki Katonda tabaako ky'akola okutuyamba ffe abantu be? Bino bye nayagadde okubuuza.”
26Wuriyeeli n'addamu nti: ‘‘Bw'onoowangaala, ojja kwewuunya by'onoolaba, kubanga omulembe guno guyita mangu. 27Omulembe gujjudde obuyinike n'obuteemalirira, tegusobola kuwanirira birungi byonna Katonda bye yasuubiza okuwa abatukuvu mu biseera ebijja. 28Ku by'ombuuzizza, ekibi kyasigibwa dda, naye amakungula gaakyo tegannatuuka. 29Ekibi ekyasigibwa kirimala kukungulwa, n'ensi eno kwe kyasigibwa n'eggyibwawo, ne walyoka wabeerawo awasigibwa ebirungi. 30Ku ntandikwa ensigo emu ey'ekibi eyasigibwa mu mutima gwa Adamu, laba ebibi by'ebaze okutuusa kati, we byenkana obungi. Era lowooza gye birikoma okweyongera, okutuusa lwe birisalibwa ne bikubibwa, ku lunaku olw'okusalirako omusango!#Laba ne 2 Esd 3:20 31Pima ebibi ebivudde mu nsigo emu embi, olabe bwe byenkana obungi. 32Amakungula nga galiba ga kikangabwa ku lunaku olw'okusalirako omusango, ebirimba ebyo byonna eby'eŋŋaano ebitabalika bwe biriwuulibwa!”
33Ne mbuuza nti: ‘‘Ebyo biribaawo bitya, era biribaawo ddi? Lwaki obulamu bwaffe bumpi bwe butyo, era bujjudde obuyinike?”
34Wuriyeeli n'addamu nti: ‘‘Leka kukola bintu mu bwangu okusinga Katonda Atenkanika. Ggwe weerowoozaako wekka. Naye Katonda alumirwa buli omu. 35By'obuuza bye bimu n'abantu abaakola ebituufu bye babuuza nga bali eyo gye bakuumirwa nga balindirira. Bagamba nti: ‘Tulimala bbanga ki nga tuli wano? Olunaku olw'okusalirwako omusango lulituuka ddi, ne tufuna empeera yaffe?’ 36Ssaabamalayika Yeremyeli abaddamu nti: ‘Ebyo biribaawo amangu ddala ng'omuwendo gw'abo ababonyaabonyezebwa nga mmwe, gumaze okujjula. Kubanga Katonda yapima omulembe guno,#Laba ne 2 Esd 2:41; Kub 6:11 37n'abala emyaka n'ennaku. Tewali ky'alikyusaako. Byonna bya kubaawo nga bwe yabibalirira.’ ”
38Ne mmuddamu nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, naye ffe ffenna abali ku nsi tujjudde ebibi. 39Olw'ebibi byaffe, abantu abo abaakola ebituufu, abaafa, kye kibalindirizisa okufuna empeera yaabwe?”
40N'anziramu nti: ‘‘Genda obuuze omukazi ow'olubuto oba ng'asobola okubeeza mu lubuto lwe omwana, ng'emyezi gye omwenda gimaze okuwera.”
41Ne ŋŋamba nti: ‘‘Nedda Ssebo, tayinza.” Ye n'ayongera nti: ‘‘Ekifo emyoyo gy'abafu gye gikuumirwa kiri ng'omukazi ow'olubuto. 42Kyagala nnyo okuzza emyoyo egyakikwasibwa okuva ku ntandikwa y'ensi, ng'omukazi bw'ayagala okukoma okulumwa. 43Ekyo bwe kirituukirira, olwo olimanya ebyo byonna by'obuuzizza.”
44Ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, bw'osiima era bw'olowooza nti nnaategeera, nkusaba ombuulireyo ekintu ekirala kimu. 45Ekiseera ekiyise, kye kiwanvu okusinga ekijja, oba ekijja kye kiwanvu okusinga ekiyise? 46Ekiseera ekiyise nkimanyi, naye eky'omu maaso kye simanyi.”
47Awo n'aŋŋamba nti: ‘‘Jjangu oyimirire wano ku ludda lwange olwa ddyo, mbeeko bye nkulaga, era nkunnyonnyole amakulu gaabyo.” 48Ne nnyimirira kumpi naye, ne ntunula, ne ndaba omuliro ogwaka nga gumpita mu maaso. Bwe gwayitawo, ne wasigalawo omukka. 49Ate ekire eky'enkuba ne kimpita mu maaso, enkuba n'etonnya nnyingi. Eyo bwe yakya, ne wasigalawo oluwandaggirize.
50Awo malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Weetegereze kino. Ng'enkuba bw'ebadde ennyingi okusinga oluwandaggirize oluddiridde, n'omuliro nga bwe gubadde omungi okusinga omukka gwe guleseewo, bwe kityo n'ekiseera ekiyise kiwanvu okusinga ekijja. Ekiseera eky'omu maaso kiri ng'oluwandaggirize n'omukka.”
Obubonero obuliraga enkomerero
51Awo ne mmugamba nti: ‘‘Nkwegayiridde, mbuulira, olowooza ndiba nkyali mulamu mu kiseera ekyo? Oba ani aliba omulamu mu biro ebyo?”#Laba ne Mat 24:4-31; Mak 13:5-27; Luk 21:8-28
52Ye n'anziramu nti: ‘‘Oba nga obuuza kumanya obubonero obuliraga enkomerero, nnyinza okukubuulirako obumu, naye ebikwata ku bulamu bwo, saatumiddwa kubyogerako era sibimanyi.

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 4: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in