YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 3

3
Ezera asaba nga yeemulugunya
1Nga wayiseewo emyaka amakumi asatu nga Yerusaalemu kigudde, nze Seyalutiyeli, era amanyiddwa nga Ezera, nali mu Babilooni. Nali ngalamidde ku kitanda kyange, nga neeraliikiridde era nga nsobeddwa,#Laba ne Ezer 3:2; 5:2; Neh 12:1 2nga bwe ndowooza ku Yerusaalemu ekyazikirira, ne ku abo abali obulungi e Babilooni gye baatwalibwa. 3Bwe nasoberwa ennyo, kyennava ntandika okwogera ne Katonda Atenkanika, nga ntidde, ne mmugamba nti: 4‘‘Ayi Mukama Katonda, ye ggwe wekka eyayogera ekigambo ku ntandikwa, ensi n'etondebwa. 5Walagira enfuufu, n'evaamu Adamu. N'obumba omubiri gwe n'engalo zo, n'ogufuuwamu omukka ogw'obulamu, n'atandika okuba omulamu. 6Wamutwala n'omuteeka mu nnimiro ey'e Edeni, ggwe wennyini gye wateekawo ng'ensi tennabeerawo. 7Wamuwa ekiragiro kimu bwe kiti, naye n'akujeemera. Amangwago ye n'ezzadde lye n'obafuula ab'okufa.
‘‘Mu Adamu mwe mwava amawanga n'ebika n'eŋŋanda z'abantu n'amaka, ebitabalika.#Laba ne Mag 1:13-14; 2:23-24 8Amawanga gonna ne gakola kye gaagala, ne goonoona, naye n'otobaako ky'okola okugaziyiza.#Laba ne Nta 6:12 9Wabula ekiseera kyatuuka n'oleeta omujjuzo gw'amazzi, n'ozikiriza abantu ku nsi.#Laba ne Nta 6:9–8:22 10Ekibonerezo ekyo ne kiba kya bonna: nga Adamu bwe yafa, bwe lityo n'ezzadde ly'abantu bonna ne lifa mu mujjuzo gw'amazzi, 11okuggyako omuntu omu, Noowa, gwe wawonyaawo n'ab'omu maka ge, ne bazzukulu be bonna abatukuvu.
12‘‘Oluvannyuma abantu baddamu okwala ku nsi, amaka n'ebika ne byeyongera obungi. Naye era nabo ne bakola ebibi n'okusinga abaabakulembera. 13Bwe baayonoona bwe batyo, n'obalondamu Aburahamu. 14Wamwagala era ekiro mu ttumbi ye yekka gwe wabuulirako ky'oyagala. 15Wakola naye endagaano ey'olubeerera, era n'omusuubiza nti tolyabulira bazzukulu be. Wamuwa Yisaaka, ne Yisaaka n'omuwa Yakobo ne Esawu. 16Walondako Yakobo, Esawu n'otomusiima. Yakobo n'avaamu eggwanga eddene.
17‘‘Waggya bazzukulu ba Yakobo e Misiri, n'obaleeta n'obatuusa ku Lusozi Sinaayi. 18Eyo gye wawetera eggulu ne likka, n'onyeenyanyeenya ettaka, n'oyuuguumya ensi, n'okankanya amazzi agali wansi w'ensi, n'otabulatabula ebitonde byonna. 19Ekitiibwa kyo kyayita mu miryango ena: omuliro, musisi, embuyaga n'omuzira, bw'otyo n'owa bazzukulu ba Yakobo, Abayisirayeli, ebiragiro n'Amateeka. 20Naye tewabaggyaamu mutima gwabwe omubi, kusobozesa Mateeka go kubagasa.#Laba ne Sir 15:14 21Kubanga Adamu omuntu eyasooka, yazitoowererwa omutima ogusikirizibwa okukola ekibi era n'akikola, bw'atyo n'awangulwa, era ne bazzukulu be bonna bwe batyo. 22Endwadde n'efuuka ya lukonvuba. Era wadde Amateeka mu mitima gy'abantu gaalimu, naye ekibi kyali kisimbidde ddala amakanda mu bo. Ekirungi kyekyava kibaggwaamu, ekibi ne kibasigalamu.
23‘‘Bwe waayitawo emyaka mingi, n'otuma omuweereza wo Dawudi. 24Wamugamba okuzimba ekibuga kituumibwe erinnya lye wakiwa, era mu kibuga ekyo, ebitambiro bikuweerezebwenga. 25Ekyo kyakolebwa okumala emyaka mingi, okutuusa abatuuze b'omu kibuga ekyo lwe baalemererwa, 26ne boonoona nga Adamu ne bazzukulu be bonna, kubanga nabo baalina omutima gwe gumu ogusikirizibwa okukola ekibi. 27Kyewava owaayo ekibuga kyo ekyo mu mikono gy'abalabe bo.
28‘‘Nalowooza ne ŋŋamba nti: ‘Ab'omu Babilooni balina empisa ennungi okusinga ab'omu Yerusaalemu, kyebaava bawangula Yerusaalemu?’ 29Naye bwe natuuka wano e Babilooni, nasangayo ebibi bingi ebitabalika. Era mu myaka gino amakumi asatu gye nnaakamalayo, ndabye aboonoonyi bangi. Kale ne nsoberwa 30okulaba bw'ogumiikiriza aboonoonyi n'obasaasira, era bw'okuuma abalabe bo, n'ozikiriza abantu ababo. 31Tewali muntu n'omu gwe wali otangaazizza ku ngeri gy'okolamu ebintu byo. Kale Babilooni kye kikola ebirungi okusinga Yerusaalemu? 32Waliwo eggwanga eddala erikumanyi oba erikkiriza endagaano zo okuggyako Yisirayeli? 33Naye Yisirayeli talina kalungi na kamu ke yafuna, wadde omugaso gwe yaggya mu kutegana kwe. Ntambudde nnyo mu mawanga amalala, ne ndaba abaayo nga bwe bali obulungi, newaakubadde tebakuuma biragiro byo. 34Kaakano ayi Mukama, singa opima ebibi ebyaffe n'eby'abantu ab'amawanga amalala, ojja kulaba ng'ebyabwe bye bisinga okuzitowa. 35Waali wabaddewo ekiseera abantu abali ku nsi kye batayonoonerangako mu maaso go? Naye waliwo eggwanga eddala eryali likuumye ebiragiro byo ng'erya Yisirayeli? 36Oyinza okusangayo omu n'omu, naye nga si ggwanga lyonna.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 3: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in