YouVersion Logo
Search Icon

Luk 6:27-49

Luk 6:27-49 BIBU1

“Naye nze mbagamba mmwe abawuliriza: Mwagalenga abalabe bammwe; mukolerenga bulungi ababakyaye. Mwagalizenga bulungi ababavumirira; musabirenga ababavuma. Oli akukubanga ku ttama erimu, mukyusize n'eddala; n'oli atwalanga omunagiro gwo, mulekere n'ekkanzu. Buli akusabanga, omuwanga; n'oli akututteko ebibyo, tobimusabanga. Nga bwe mwagalanga abantu babakolere, nammwe bwe mubanga mubakolera. Obanga mwagala babaagala, ekinaabasiimisa kiruwa? Anti n'aboonoonyi baagala ababaagala. Obanga mukolera bulungi ababakolera obulungi, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi bwe bakola batyo. Obanga muwola abo bokka be musuubira okufunako, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, balyoke baddizibwe kyenkana. Naye mmwe mwagalenga ababakyaye; mukolerenga bulungi; muwolenga nga temulina kye musuubirayo, olwo empeera yammwe eriba nnene; mulibeera baana b'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga agirira ekisa entasiima n'ababi. Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa. “Temulamulanga, nammwe lwe mutaliramulibwa. Temusaliranga bantu misango, nammwe lwe gitalibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe lwe munaasonyiyibwanga. Mugabenga, nammwe lwe muligabirwa; ekipimo ekituufu, ekikkaatiriziddwa, ne kisuukundwa, ne kibooga, balikibayiwa mu kikondoolo. Kubanga ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.” Era n'abagerera olugero nti: “Kale, muzibe ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebagwa mu bunnya? Omuyigirizwa takira muyigiriza; wabula buli aba ayigiriziddwa obulungi afaanana n'omuyigiriza we. Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo? Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Muganda wange, ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga tolaba kisiki kiri mu liiso lyo? Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi, n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo. “Anti tewali muti mulungi gubala bibala bibi; oba omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. Buli muti nno gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga entontogolo z'omukunyu tezinogebwa ku maggwa; n'emizabbibu teginogebwa ku kirobo. Omuntu omulungi ku birungi by'aterese mu mutima gwe kw'aggya ebirungi; n'omuntu omubi ku bibi by'aterese kw'aggya ebibi; anti ku bijjudde mu mutima akamwa ke kwe kaggya bye koogera. “Lwaki mumpita Mukama, Mukama, sso ga temukola bye ŋŋamba? Buli ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange, n'abissa mu nkola, nzija kubalaga gw'afaanana. Afaanana omuntu mu kuzimba ennyumba, eyasima n'akka wansi, omusingi n'agutandikira ku lwazi; omujjuzi bwe gwajja, mukoka n'akuluggukira ku nnyumba eyo, naye n'atayinza kugimenya, kubanga yazimbibwa bulungi. Naye buli awulira n'atassa mu nkola, afaanana omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimyewo musingi; mukoka bwe yagikuluggukirako, amangu ago n'egwa, n'ekigwo kyayo ne kiba kinene.”