Yow 5
5
1Oluvannyuma ne wabaawo embaga enkulu ey'Abayudaaya; ne Yezu n'ayambuka e Yeruzaalemu.
2Kati nno e Yeruzaalemu, okumpi n'omuzigo oguyitibwa ogw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata,#5,2 Oba: Betesida, oba Betisayida. nga kiriko ebigango bitaano. 3Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde nkumu, bamuzibe, abalema, n'abakonzibye.#5,3 Ez'edda zigattako: …nga balindirira amazzi okusambattuka. 4 kubanga malayika w'Omukama oluusi yakkanga mu kidiba, amazzi ne gasambattuka. Eyasookanga okwesuula mu kidiba amazzi nga gasambattuse, ye yawonanga endwadde yonna gye yabanga nayo. 5Waaliwo omusajja nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde. 6Yezu bwe yamulaba ng'agalamidde awo, n'ategeera nga yaakamala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwona?” 7Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu ankasuka mu kidiba amazzi nga gabadde gasambattuse; kubanga nze we ntuukirayo ng'omulala yakkiriddeyo dda.” 8Yezu n'amugamba nti: “Golokoka, situla olunnyo lwo otambule.” 9Amangu ago omusajja oyo n'awona; n'asitula olunnyo lwe, n'atambula.
Kazzi olunaku lwali lwa Sabbaato. 10#Nek 13,19; Yer 17,21.Abayudaaya kwe kugamba eyali awonyezeddwa nti: “Luno lwa Sabbaato; tokkirizibwa kwetikka lunnyo lwo.” 11Ye n'abaddamu nti: “Oli eyamponyezza ye yaŋŋambye nti: ‘Situla olunnyo lwo otambule.’ ” 12Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Situla olunnyo lwo otambule’?” 13Eyawonyezebwa yali tamumanyi; anti ne Yezu yali yeeseebuludde kubanga ekibiina kinene kyali kikuŋŋaanidde mu kifo ekyo. 14Oluvannyuma Yezu n'amusanga ate mu Kiggwa n'amugamba nti: “Kale wuuyo kati owonye, leero togezanga n'oyonoona, sikulwa ng'ogwirwa akabi akasingawo. 15Omusajja oyo n'agenda abuulira Abayudaaya nti eyamuwonya ye Yezu.” 16Abayudaaya kyebaava bayigganyanga Yezu, kubanga ekyo yakikola ku Sabbaato. 17Naye Yezu n'abaanukula nti: “Kitange n'okutuusa kati akyakola; nange nkola.” 18Abayudaaya kyebaava banoonyeza ddala okumutta, kubanga yali tamenya Sabbaato yokka, naye nga ne Katonda amuyita Kitaawe, ne yessa bw'atyo ku lubu lumu ne Katonda.
Yezu ne Kitaawe bali kimu
19Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti Mwana ku bubwe tayinza kukola kantu, wabula era ng'alabye Taata ky'akola. Kubanga buli ky'akola ne Mwana ky'akola; 20anti Taata ayagala Mwana, amwoleka byonna yennyini by'akola; ate alimwoleka n'ebisinga ku ebyo, nammwe ne mwewuunya. 21Nga Taata bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, ne Mwana bw'atyo, gw'aba ayagadde amuzzaamu obulamu. 22Taata talina gw'alamula; okulamula kwonna yakukwasa Mwana, 23bonna bawe Mwana ekitiibwa nga bwe bakiwa Taata. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Taata eyamutuma tamussaamu kitiibwa. 24Mbagambira ddala mazima nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oli eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo; talamulibwa, wabula avudde mu lumbe n'ayingira mu bulamu. 25Mbagambira ddala mazima nti obudde bujja, n'okutuuka butuuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda; abaliba bawulidde, baliba balamu. 26Kubanga nga Taata bw'alina obulamu mu ye, bwe yawa bw'atyo ne Mwana okuba n'obulamu mu ye, 27n'amuwa n'obuyinza obw'okulamula, kubanga ye Mwana w'omuntu. 28Ekyo temukyewuunya, kubanga obudde bujja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye. 29#Dan 12,2.Abo abaayisa obulungi balivaayo okuzuukirira obulamu; abaayisa obubi ne bazuukirira okulamulibwa. 30Nze siyinza kukola kantu ku bwange; nga bwe mpulira, bwe nnamula; era okulamula kwange kutuufu; kubanga sigoberera kye njagala, wabula ekyo eyantuma ky'ayagala.
31“Singa mbadde neejulira nzekka, okujulira kwange tekwandibadde kwa mazima. 32Waliwo omulala anjulira; mmanyi nga by'anjogerako bya mazima. 33#1,19-27; 3,27-30.Mwatuma ewa Yowanna n'ajulira amazima. 34Omuntu obuntu si y'anjulira, wabula ebyo mbyogedde mulyoke mulokoke. 35Oyo ye yali ettawaaza eyaka emulisa; nammwe mwajaguliza mu kitangaala kye akaseera. 36Naye nze okujulira kwe nnina kusinga n'okwa Yowanna, kubanga ebikolwa Taata bye yampa okukola, ebyo byennyini bye nkola, binjulira nga Kitange ye yantuma. 37#Mat 3,17; Mar 1,11; Luk 3,22.N'oyo Taata yennyini eyantuma anjulira; eddoboozi lye temuliwulirangako, era temulabanga na bw'afaanana. 38N'ekigambo kye temukirina mu mmwe kubasigalamu, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 39#Luk 24,27; Ebik 13,27.Muwenja Ebiwandiiko, kubanga mulowooza nti mwe musanga obulamu obutaggwaawo; sso ate by'ebyo ebinjulira; 40sso mmwe mugaana okujja gye ndi okufuna obulamu. 41Ekitiibwa kyange tekiva mu bantu. 42Naye mmanyi nga temulina kwagala kwa Katonda mu mmwe. 43Nze najja mu linnya lya Taata, naye ne mutannyaniriza; bwe walijjawo omulala ajja ku bubwe, oyo gwe mulyaniriza. 44Muyinza mutya okukkiriza, mmwe ekitiibwa kyammwe kye muggya mu kuwaanagana, abatanoonya kitiibwa ekiva mu Katonda yekka? 45Muleke kulowooza nti nze ndibawawaabira ewa Taata; abawawaabira ye Musa, mmwe mwe mwassa essuubi lyammwe. 46Mubeera kukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ku nze. 47Kale oba ebiwandiiko bye temubikkiriza, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
Yezu aliisa abantu enkumu
Currently Selected:
Yow 5: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.