Yow 17
17
1Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso ku ggulu, n'agamba nti: “Taata, akadde katuuse; gulumiza Omwana wo n'Omwana wo alyoke akugulumize, 2kubanga anti wamuwa obuyinza ku buli muntu yenna; alyoke awe obulamu obutaggwaawo be wamuwa. 3Obulamu obutaggwaawo bwe buno: bonna okukumanya nga ggwe Katonda wekka ow'amazima ne Yezu Kristu gwe watuma. 4Nze nakugulumiza ku nsi; omulimu gwe wampa okukola ngumalirizza. 5Kaakano nno, Taata, ngulumiza gy'oli n'ekitiibwa kye nalimu w'oli ensi nga tennaba kubaawo.
Asabira Abatume be
6“Erinnya lyo nalimanyisa abantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa, era bakutte ebigambo byo. 7Kaakano bategedde nga byonna bye wampa byava gy'oli; 8kubanga nababuulira ebigambo bye wampa, ne babikwata, ne bamanya mu mazima bwe nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9Nze abo be nsabira; sinnasabira ba nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo; 10byonna ebyange bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumiziddwa mu byo. 11Kaakano nze sikyali ku nsi, sso bo bakyali ku nsi; nze nzija gy'oli. Taata Omutuukirivu, bakuumire mu linnya lyo lye wampa, balyoke babeere kimu nga ffe bwe tuli ekimu. 12#Zab 41,10; Yow 13,18.Bwe nali nga nkyali nabo, nabakuumira mu linnya lyo lye wali ompadde; nabakuuma, era ku bo tewali yabula, wabula omwana w'okuzikirira, Ebiwandiiko biryoke bituukirire. 13Kaakano nzija gy'oli; bino mbyogedde kati mu nsi, essanyu lyange lituukirire mu bo. 14Mbawadde ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 15Sisaba obaggye mu nsi, wabula nti obatalize omubi. 16Bo si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 17Batukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. 18Nga nze bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo bwe mbatumye mu nsi. 19Olw'okubeera bo neetukuza, nabo balyoke beetukuze mu mazima.
Asabira abalimukkiriza
20“Sisabira abo bokka, naye nsabira n'abalinzikiriza ku lw'ekigambo kyabwe, 21bonna balyoke babeere kimu, nga ggwe Taata bw'oli mu nze nange bwe ndi mu ggwe, balyoke babeere mu ffe, ensi ekkirize nga ggwe wantuma. 22Ekitiibwa kye wampa nange nkibawadde, balyoke babeere kimu, nga ffe bwe tuli ekimu; 23nze mu bo naawe mu nze, bafuukire ddala kimu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, ate nga wabaagala nga nze bwe wanjagala. 24Taata, njagala abo be wampa nabo babe nange awo we ndi, balabe ekitiibwa kyange kye wampa, kubanga wanjagala nga n'ensi tennabangibwawo. 25Ayi Taata Omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nakumanya, na bano baamanya nga ggwe wantuma. 26Nabamanyisa erinnya lyo, era nzija kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagalamu kulyoke kubabeeremu, nange mbeere mu bo.”
III. AKADDE AK'OKUGULUMIZIBWA
A. OKUBONAABONA KWA YEZU
Yezu akwatibwa
Currently Selected:
Yow 17: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.