YouVersion Logo
Search Icon

Yow 11

11
1 # Luk 10,38-42. Waaliwo omusajja omu eyali alwadde, Lazaro ow'e Betaniya ekibuga kya Marita ne Mariya muganda we. 2#12,3.Mariya ye wuuyo eyasiiga Omukama omuzigo ogw'akawoowo n'amusiimuula ebigere n'enviiri ze; Lazaro omulwadde nga ye mwannyina. 3Awo bannyina ne bamutumira nga bagamba nti: “Mukama, gw'oyagala wuuno alwadde.” 4Yezu bwe yawulira n'agamba nti: “Obulwadde obwo tebuzze kumalira mu kufa, wabula lwa kitiibwa kya Katonda, mu bwo Omwana wa Katonda agulumizibwe.”
5Yezu yali ayagala Marita ne muganda we Mariya ne Lazaro. 6Bwe yawulira nga Lazaro mulwadde, n'asigala ennaku endala bbiri mu kifo kye yalimu. 7Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.” 8#8,59; 10,31.Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Rabbi, Abayudaaya baabano babadde bakunoonya kukukuba mayinja, ate oddeyo?” 9Ye n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziri kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana, teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno. 10Naye oli bw'atambula ekiro yeesittala, kubanga ekitangaala tekimuliimu.” 11Bw'atyo bwe yayogera, era n'abagamba nti: “Lazaro mukwano gwaffe yeebase, naye ka ŋŋende mmuzuukuse mu tulo.” 12Awo abayigirizwa be ne bagamba nti: “Mukama obanga yeebaseeko, anassuuka.” 13Ye Yezu yali ayogera ku kufa kwe; naye bo ne balowooza nti ategeezezza kwebaka ku tulo. 14Awo Yezu n'abaatulira nti: “Lazaro afudde; 15naye okubeera mmwe nsanyuse nti saaliyo mulyoke mukkirize. Naye ka tugende gy'ali.” 16Awo Toma ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufe naye.”
Akabonero k'okuzuukizibwa kwa Lazaro
17Yezu bwe yatuukayo, yasanga nga Lazaro yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18Betaniya kyali kiriraanye Yeruzaalemu, sitadiyo nga kkumi na ttaano;#11,18 Ze kilomita nga 3. 19n'Abayudaaya bangi baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. 20Marita bwe yawulira nga Yezu atuuse, n'agenda okumusisinkana; Mariya ye yasigala atudde mu nnyumba. 21Marita n'agamba Yezu nti: “Mukama, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde; 22naye ne kati mmanyi nga buli ky'onooba osabye Katonda, Katonda anaakikuwa.” 23Yezu n'amugamba nti: “Mwannyoko alizuukira nate.” 24Marita n'amugamba nti: “Mmanyi ng'alizuukira nate mu mazuukira ku lunaku olw'oluvannyuma.” 25#5,21.26.Yezu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, nze bulamu; anzikiriza, ne bw'alifa, aliba mulamu. 26Era buli yenna omulamu anzikiriza talifa emirembe gyonna. Ekyo okikkiriza?” 27Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama, nze nzikiriza nga ggwe Kristu, Omwana wa Katonda, agenda okujja mu nsi muno.”
28Olwamala okwogera ebyo, n'agenda, n'ayita Mariya muganda we mu kaama, n'amugamba nti: “Omuyigiriza ali wano, akuyita.” 29Bwe yawulira, n'asitukiramu, n'agenda gy'ali. 30Yezu yali tannatuuka mu kyalo, ng'akyali mu kifo Marita we yamusanga. 31Abayudaaya abaali naye mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, nabo ne bamugoberera nga balowooza nti yali agenda ku ntaana akaabireyo. 32Mariya bwe yatuuka awaali Yezu, bwe yamulaba, n'agwa ku bigere bye, nga bw'amugamba nti: “Mukama, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33Yezu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, emmeeme n'emutenguka, n'atabanguka, 34n'agamba nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Mukama, jjangu olabeyo.” 35Yezu n'akaaba. 36Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala.” 37Naye abamu mu bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso omusajja eyazaalibwa nga muzibe, abadde tayinza kulobera ono kufa?”
38Yezu n'addamu okutenguka emmeeme; n'atuuka ku ntaana; yali mpuku ng'eteekeddwako ejjinja. 39Yezu n'agamba nti: “Ejjinja muliggyeko.” Marita mwannyina w'omufu n'amugamba nti: “Mukama, kati awunya, kubanga luno lwa kuna ng'afudde.” 40Yezu n'amugamba nti: “Saakugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” 41Awo ne baggyako ejjinja. Yezu n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu, n'agamba nti: “Taata, nkwebaza kubanga ompulidde. 42Mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye ebyo mbyogedde olw'okubeera ekibiina ekyetoolodde wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.” 43Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ddene nti: “Lazaro, jjangu ebweru.” 44Eyali afudde n'avaayo ng'ebigere bye n'emikono bisibiddwa ebiwero, n'amaaso nga gazingiddwa mu kiremba. Yezu n'abagamba nti: “Mumuzingulule, mumuleke atambule.”
Akabonero kano kakyayisa Yezu
45Bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza. 46Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo ne bababuulira Yezu ky'akoze. 47Bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanya olukiiko, ne bagamba nti: “Tunaakola ki! Kubanga omuntu ono akola obubonero bungi. 48Bwe tumuleka bwe tutyo, abantu bonna bajja kumukkiriza, n'Abaroma bajja kujja bazikirize ekifo kyaffe ekitukuvu n'eggwanga lyaffe.” 49Naye omu ku bo erinnya lye Kayafa, eyali kabona omukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 50Temulaba nga ffe tusinga okugasirwa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?” 51Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali kabona omukulu mu mwaka ogwo, yalanga bulanzi nti Yezu yali agenda kufiirira ggwanga, 52ate si ggwanga lyokka, naye n'okukuŋŋaanya awamu abaana ba Katonda abaali basaasaanye. 53Okuva ku lunaku olwo ne bateeseza ddala okumutta.
54Olw'ekyo Yezu nga takyatambula lwatu mu Bayudaaya; kwe kuvaayo n'agenda mu nsi eriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo wamu n'abayigirizwa be.
D. OKULAGA E YERUZAALEMU OGUSEMBA
Pasika esembera
55 # Emiw 9,6-13; 2 Ebyaf 30,15-19; Yow 18,28. Pasika y'Abayudaaya yali kumpi n'okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo eyo ne bambuka e Yeruzaalemu nga Pasika tennatuuka beetukuze. 56Ne bamagamaga Yezu; ne bagambagana nga bayimiridde awo mu Kiggwa nti: “Mulowooza mutya, ono anajja ku mbaga enkulu oba tajje?” 57Kubanga bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti buli muntu amanyi w'ali abategeeze, balyoke bamukwate.
Yezu asiigibwa omuzigo e Betaniya

Currently Selected:

Yow 11: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in