Zekkaliya 14
14
1 #
Yo 1:15
Laba, olunaku lwa Mukama lujja, omwandu gwo bwe guligerekerwa mu ggwe wakati. 2#Is 13:16, Kung 5:11, Yo 3:2, Luk 21:24Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana; era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga. 3Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo. 4#Ez 11:23Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiika obwa kkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiika obwa ddyo. 5#Am 1:1, Mat 16:27, 1 Bas 3:13Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe. 6Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, 7#Mat 24:36, Kuv 21:5naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana. 8#Ez 47:1, Yo 2:20, Yok 4:10, Kub 22:1Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo. 9#Zab 47:7, Mal 1:14, Bef 4:5,6Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu. 10#Is 2:2; 40:4, Yer 31:8; 37:13, Zek 2:4; 12:6Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogw'olubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11#Yer 23:6, Kub 22:3Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe. 12Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. 13#1 Sam 14:20, Kag 2:22Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne. 14#Ez 39:10, Zek 12:2Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini. 15Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba. 16#Leev 23:24,39-43, Zek 8:21Awo olulituuka buli muntu asigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira. 17#1 Bassek 17:1, Is 60:12Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera. 18Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. 19Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. 20#Kuv 28:36, Mi 4:13Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti OBUTUKUVU ERI MUKAMA; era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto. 21#Ez 44:9, Yo 3:17Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo: era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.
Currently Selected:
Zekkaliya 14: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.