Zekkaliya 13
13
1 #
Ez 36:25
Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi. 2#Kuv 23:13, Mi 5:13, Zek 10:2Awo olulituuka ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu. 3#Ma 13:1-11Awo olulituuka omuntu ng'akyagenda okulagula, kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula. 4#2 Bassek 1:8, Mi 3:7Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe: 5#Am 7:14naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange. 6N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.
7 #
Is 40:11, Mat 26:31 Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba, n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato. 8Awo olulituuka mu nsi yonna, bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo. 9#Zab 50:15, Is 48:10, Ez 11:20, Mal 3:2,3N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.
Currently Selected:
Zekkaliya 13: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.