YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 5

5
1 # Is 6:1; 29:11, Zab 47:8, Kub 4:2, Ez 2:9,10 Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu. 2Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu? 3Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira. 4Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira: 5#Lub 49:9, Is 11:1,10, Kub 22:16omu ku bakadde n'aŋŋamba nti Tokaaba: laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula, okwanjuluza ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu. 6#Is 53:7; 11:2, Yok 1:29,36, Kub 4:5, Zek 4:10Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna. 7#Is 6:1, Zab 47:8N'ajja n'akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe. 8#Zab 141:2, Kub 14:2; 15:2; 8:3,4Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu bana ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu. 9#Zab 33:3; 144:9Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga, 10#Kuv 19:6, Is 61:6, Kub 1:6; 20:6; 22:5n'obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi. 11#1 Bassek 22:19, Dan 7:10Ne bamalayika abangi abeetoolodde entebe n'ebiramu n'abakadde; n'omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12#Is 53:7, 1 Byom 29:11, Baf 2:8-10nga boogera n'eddoboozi ddene nti Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa. 13#Is 6:1, Zab 47:8Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga, omukisa gubenga n'ettendo n'ekitiibwa n'amaanyi emirembe n'emirembe. 14#Kub 4:10; 19:4N'ebiramu ebina ne byogera nti Amiina. N'abakadde ne bavuunama ne basinza.

Currently Selected:

Okubikkulirwa 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in