YouVersion Logo
Search Icon

Abafiripi 4

4
1 # 2 Kol 1:14, 1 Bas 2:19,20 Kale, baganda bange abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.
2Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waffe. 3#Zab 69:28, Luk 10:20Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde obeerenga abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri, era ne Kulementi, n'abalala bakozi bannange, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.
4 # Baf 3:1, 2 Kol 13:11 Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga. 5#Beb 10:37, Yak 5:8,9Okuzibiikiriza kwammwe kumanyibwenga abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi. 6#Mat 6:25-34, Bak 4:2, 1 Peet 5:7, Zab 145:18, Yok 14:27Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. 7#Bak 3:15N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.
8 # Bar 12:17 Ebisigaddeyo, ab'oluganda, eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga. 9#1 Bas 5:23, Bar 16:20, 1 Kol 14:33Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
10Naye nsanyukidde nnyo Mukama waffe kubanga kaakano kye mujje musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga. 11#1 Tim 6:6Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga. 12#2 Kol 6:10Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu. 13#2 Kol 12:10, 2 Tim 4:17Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi. 14Naye mwakola bulungi okussa ekimu n'ebibonoobono byange. 15#2 Kol 11:9Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga mu kusooka kw'enjiri, bwe nnava mu Makedoni, nga siwali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka; 16kubanga era ne mu Ssessaloniika mwaweereza omulundi gumu, era n'ogw'okubiri, olw'okwetaaga kwange. 17#1 Kol 9:11Si kubanga nnoonya kirabo; naye nnoonya bibala ebyeyongera ku muwendo gwammwe. 18#Kuv 29:18, Ez 20:41, Bef 5:2Naye nnina ebintu byonna, ne nsukkirira: nzikuse, bwe nnamala okuweebwa Epafulodito ebyava gye muli, evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda. 19Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu. 20Era Katonda era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
21Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza. 22#Baf 1:13Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali.
23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.

Currently Selected:

Abafiripi 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy