YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 36

36
1 # Kuv 31:2,6; 35:10, Yob 32:8, Nge 2:6 Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.
2Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola: 3#Kuv 35:24-29Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya. 4N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola; 5#2 Kol 8:2,3ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola. 6Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta. 7Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo.
8 # Kuv 26:1-4 Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola. 9Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna gyali gya kigero kimu. 10N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka: era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka. 11N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 12Yakola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri: eŋŋango zaalabagana zokka na zokka. 13Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu. 14Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: yakola emitanda kkumi na gumu. 15Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu. 16N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka. 17N'akola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 18Era n'akola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu. 19Era n'agikolera eweema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.
20 # Kuv 26:15-29 Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira. 21Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo. 22Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema. 23N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo: 24era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri. 25Era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'akola embaawo amakumi abiri, 26n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 27Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawo mukaaga. 28Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 29Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi. 30Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo. 31Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema, 32n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba. 33N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi. 34N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteekera emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu.
35 # Kuv 26:31-37 N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa: ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola. 36N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu: n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza. 37N'alukolera akatimba oluggi olw'eweema, aka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza; 38n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo: n'emitwe gyazo n'emiziziko gyazo n'abibikkako zaabu: n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo.

Currently Selected:

Okuva 36: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in