YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 35

35
1 # Kuv 35:32 Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola. 2#Kuv 31:14,15Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga. 3Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
4 # Kuv 25:2 Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti 5#Kuv 25:2-7Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo; 6ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 7n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 8n'amafuta g'ettabaaza, n'ebyakaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 9n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba. 10#Kuv 31:6Era buli muntu mu mmwe alina omutima ogw'amagezi ajje akole byonna Mukama by'alagidde; 11#Kuv 26:1-30ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 12#Kuv 25:10-22; 26:31-33essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu; 13#Kuv 25:23-30emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 14#Kuv 25:31-39; 27:20era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza; 15#Kuv 26:36; 30:1-10,23-33,34-38n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema; 16#Kuv 27:1-8; 30:18-21ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 17#Kuv 27:9-17ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya; 18#Kuv 27:19enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo; 19#Kuv 28:2-43n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona.
20Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa. 21Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu. 22Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama. 23Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'abireeta. 24Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta. 25N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. 26N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi ne balanga ebyoya by'embuzi. 27#1 Byom 29:6-8, Ezer 2:68N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba; 28n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu. 29#1 Byom 29:9Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa.
30 # Kuv 31:1-6 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Laba, Mukama ayise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda; 31era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola: 32n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo, 33n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi. 34Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani. 35Abo abajjuzizza emitima gyabwe amagezi, okukola buli ngeri y'emirimu, egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omukozi ow'amagezi, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu, n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi egya bonna abakola emirimu gyonna gyonna, n'abo abayiiya emirimu egy'amagezi.

Currently Selected:

Okuva 35: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in