YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 33

33
1 # Lub 35:12 Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo: 2#Kuv 23:23,28era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi: 3#Kubal 16:21,45mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo. 4#2 Sam 19:24Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye. 5Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola. 6Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7 # Kuv 25:22; 29:42,43 Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira. 8Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema. 9#Kuv 13:21, Zab 99:7Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa. 10Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye. 11#Kubal 12:8, Ma 34:10Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
12Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange. 13#Ma 9:26, Zab 27:11Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo. 14#Kuv 40:34-38, Yos 21:44, Is 63:9N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula. 15N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano. 16#Kuv 19:5,6, Kubal 14:14, 1 Bassek 8:53Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi?
17Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya. 18#1 Tim 6:16N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo. 19#Bar 9:15N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatirwanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga. 20#Kuv 24:10, Balam 13:22, Is 6:5, Kub 1:16N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu. 21Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja: 22awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo: 23ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike.

Currently Selected:

Okuva 33: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in