YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 32

32
1 # Kuv 24:18, Bik 7:40 Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 2#Balam 8:24-26Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere. 3Abantu bonna ne bamenya ku mpeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni. 4#Kuv 20:23, Balam 17:3,4, 1 Bassek 12:28, Zab 106:19, Bik 7:41N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri. 5#2 Bassek 10:20Alooni bwe yalaba, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama. 6#1 Kol 10:7Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.
7 # Ma 9:12 Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza: 8#Kuv 20:3; 4:23, Ma 9:16, 1 Bassek 12:28bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri. 9#Kuv 33:3,5; 34:9, Ma 9:6,13; 10:16, 2 Byom 30:8, Bik 7:51Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano era, laba, be bantu abalina ensingo enkakanyavu: 10#Ma 9:14, Kubal 14:12kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene. 11#Ma 9:26, Zab 106:23Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza? 12#Ma 9:28Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo. 13#Lub 12:7; 22:16; 26:4, Ma 9:27, Beb 6:13Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayirira wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna. 14#2 Sam 24:16, Yer 18:8, Kos 11:8, Yo 2:13, Yon 3:10Mukama n'ajjulukuka n'aleka obubi bw'abadde ayogedde okubakola abantu be.
15 # Kuv 31:18, Ma 9:15 Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi. 16N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande. 17Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira. 18N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira. 19Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi. 20N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri. 21#Lub 20:9Musa n'agamba Alooni nti Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene? 22#Kuv 15:24; 16:2,20Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi. 23Kubanga baŋŋamba nti Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga: kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 24Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu. 25#2 Byom 28:19Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe: 26Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali. 27#Kubal 25:11, Ma 13:6-9; 33:9, Zek 13:3N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we.
28Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu. 29Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde okulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa. 30Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe. 31Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu. 32#Kubal 14:19, Zab 69:28, Luk 10:20, Bar 9:3, Baf 4:3, Kub 3:5Naye kaakano, bw'onoosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bw'otoobasonyiwe, onsangule nze, nkwegayiridde, mu kitabo kyo kye wawandiika. 33#Ez 18:4,20Mukama n'agamba Musa nti Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange. 34#Kuv 14:19, Kubal 20:16Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe. 35Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga baakola ennyana, Alooni gye yakola.

Currently Selected:

Okuva 32: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in