YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 30

30
1 # Kub 8:3 Era olikola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane: olikikola n'omuti ogwa sita. 2Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo. 3Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola. 4Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako. 5Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu. 6Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe. 7#Kuv 27:20,21, Luk 1:9,11Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga. 8Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9#Leev 10:1Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta: so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa. 10#Kuv 29:36, Leev 16:18; 23:27Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama.
11Mukama n'agamba Musa nti 12#Kubal 1:2-4; 26:2Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga. 13#Kuv 38:24, Leev 5:15; 27:25, Kubal 3:47; 18:16, Ez 45:12, Mat 17:24Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu yenkana ne gera amakumi abiri:) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama. 14Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama. 15Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe. 16#Kuv 38:25-28Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.
17Mukama n'agamba Musa nti 18Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi. 19#Zab 26:6Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe: 20bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: 21#Kuv 27:21banaanaabanga bwe batyo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna.
22Nate Mukama n'agamba Musa nti 23#Zab 45:8, Lu 4:14, Ez 27:19Era weetwalire ku byakaloosa ebimanyibwa, muulo ekulukuta sekeri bitaano, ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano, kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano, 24ne kasia sekeri bitaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni emu: 25era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu: galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako. 26#Kuv 40:9-11Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa, 27ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo ne ku kyoto eky'okwoterezangako, 28ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo. 29#Kuv 29:37Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo: buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu. 30Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona. 31Era oligamba abaana ba Isiraeri nti Gano ganaabeeranga mafuta matukuvu ag'okufukibwangako eri nze mu mirembe gyammwe gyonna. 32Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli. 33#Lub 17:14, Leev 7:20,21Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga alizikirizibwa okuva mu bantu be.
34Mukama n'agamba Musa nti Weetwalire ebyakawoowo ebiwoomerevu, sitakite, ne onuka, ne galabano; ebyakaloosa ebiwoomerevu n'omugavu omulongoofu: byonna byenkane obuzito; 35era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu: 36era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli. 37N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa: kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama. 38Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.

Currently Selected:

Okuva 30: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in