YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 29

29
1Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema, 2#Leev 2:4n'emigaati egitazimbulukuswa, n'obugaati obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta: oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano. 3Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri. 4Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi. 5#Kuv 28:2-4,8Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'ekyomukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi: 6#Kuv 28:36,37era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba. 7#Kuv 30:25N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omufukira amafuta. 8Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo. 9#Kuv 27:21; 28:39,40Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be. 10Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente. 11Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 12#Kuv 27:2N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto. 13#Leev 3:3,4Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto. 14#Leev 4:11,12, Beb 13:11Naye ennyama y'ente, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, n'obyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira: kye kiweebwayo olw'ebibi. 15Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 16Era olisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola. 17Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo. 18Era olyokera ku kyoto endiga ennamba: kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: lye vvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 19Era olitwala endiga ey'okubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 20N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'okubigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola. 21Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye: naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, b'ebyambalo by'abaana be wamu naye. 22Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza: 23n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama: 24era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 25#Leev 6:22Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 26#Leev 7:31Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era ekyo kinaabanga mugabo gwo. 27#Leev 7:32Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be: 28#Leev 7:34era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama. 29#Kubal 20:26,28N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga bya baana be abalimuddirira, okubifukirwangamu amafuta, n'okubitukulizibwangamu. 30Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu. 31Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu. 32Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 33#Leev 10:14,15; 22:10Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu. 35Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde: olibatukuliza ennaku musanvu. 36Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira: era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza. 37#Mat 23:19Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.
38 # Kubal 28:3, 1 Byom 16:40, 2 Byom 2:4, Ezer 3:3, Beb 10:11 Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa. 39#Zab 141:2, Ez 46:13Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogw'okubiri. 40Era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu eky'okuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa. 41#1 Bassek 18:29, Ezer 9:4,5N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 42#Kuv 25:22, Kubal 28:6Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe. 43#Kuv 40:34, Leev 9:23, Kubal 14:10; 16:19,42; 20:6, 1 Bassek 8:11, 2 Byom 5:14; 7:1-3, Ez 43:5, Kag 2:7,9Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange. 44#Leev 21:15; 22:9,16Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona. 45#Kuv 25:8Era naatuulanga mu baana ba Isiraeri, era naabeeranga Katonda waabwe. 46Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo: nze Mukama Katonda waabwe.

Currently Selected:

Okuva 29: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in