YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 28

28
1 # Kubal 3:2,3, Beb 5:4 Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni. 2Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 3Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwakabona. 4Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona. 5Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, nebafuta.
6Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. 7Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. 8N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. 9Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri: 10amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaalibwa. 11Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu. 12Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
13Era olikola amapeesa aga zaabu: 14n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa. 15Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola. 16Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. 17Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye; 18n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi; 19n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito; 20n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaatonebwa. 21N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri. 22Era olikola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 23Era olikola ku kyomukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'ekyomukifuba. 24Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'ekyomukifuba. 25N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 26Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. 27Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi. 28Era balisiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu. 29Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu kyomukifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 30#Leev 8:8, Kubal 27:21, Ma 33:8, 1 Sam 28:6, Ezer 2:63, Nek 7:65Era oliteeka mu kyomukifuba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
31Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki. 32Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa. 33Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola: 34endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. 35Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.
36Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 37N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga. 38Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama. 39Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza. 40Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 41N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. 42Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi: 43era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.

Currently Selected:

Okuva 28: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in