Yokaana 10
10
Omusumba Omulungi
1 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2 Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 8 Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 “Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
19 Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
22Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
25 Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 26 Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 28 Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 29 kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 30 Nze ne Kitange tuli omu.”
31 Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33 Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
34 Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 36 ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 37 Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 38 naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 39 Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40 N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 41 Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 42 Bangi ne bamukkiririza eyo.
Currently Selected:
Yokaana 10: EEEE
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.