1
Yokaana 10:10
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
Compare
Explore Yokaana 10:10
2
Yokaana 10:11
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
Explore Yokaana 10:11
3
Yokaana 10:27
Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
Explore Yokaana 10:27
4
Yokaana 10:28
Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange
Explore Yokaana 10:28
5
Yokaana 10:9
Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.
Explore Yokaana 10:9
6
Yokaana 10:14
“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
Explore Yokaana 10:14
7
Yokaana 10:29-30
kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. Nze ne Kitange tuli omu.”
Explore Yokaana 10:29-30
8
Yokaana 10:15
Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga.
Explore Yokaana 10:15
9
Yokaana 10:18
Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
Explore Yokaana 10:18
10
Yokaana 10:7
Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga.
Explore Yokaana 10:7
11
Yokaana 10:12
Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
Explore Yokaana 10:12
12
Yokaana 10:1
“Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
Explore Yokaana 10:1
Home
Bible
Plans
Videos