Okubikkulirwa 11
11
Abajulizi ababiri
1Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika n'aŋŋamba nti, “Golokoka, opime Yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu.#Ez 40:3, Zek 2:1,2, 2 Kol 6:16 2Naye oluggya oluli ebweru wa Yeekaalu luleke tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi ana mu ebiri.#Is 63:18, Luk 21:24, Zab 79:1, Dan 8:10, Kub 12:6,14; 13:5 3Nange ndibawa amaanyi abajulirwa bange babiri nga bambadde ebibukutu, okwogera obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” 4Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettaala ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi.#Zek 4:3,11-14 5Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe, era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.#2 Bassek 1:10, 2 Sam 22:9, Yer 5:14 6Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe, era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.#1 Bassek 17:1, 1 Sam 4:8, Kuv 7:17,19,20 7Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta.#Dan 7:3,7,21, Kub 13:1,7; 17:8 8Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.#Is 1:10, Luk 13:34 9Era okumala ennaku ssatu n'ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu n'ebika n'ennimi n'amawanga mu nguudo z'ekibuga, era emirambo gyabwe tegirikkirizibwa kuziikibwa mu ntaana. 10N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.#Zab 105:38 11Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo, ne bayimirira ku bigere byabwe, okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.#Ez 37:5,10, Lub 15:12 12Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti, “Mulinnye okutuuka wano.” Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne ba balaba.#2 Bassek 2:11 13Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu (7,000) mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.#Ez 38:19,20, Dan 2:19
14Ekibonyoobonyo eky'okubiri kiyise, laba, ekibonyoobonyo eky'okusatu kijja mangu.#Kub 9:12; 12:12
15Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti, “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we, era anaafuganga emirembe n'emirembe.”#Dan 2:44; 7:14,27, Zek 14:9, Kuv 15:18, Ob 21, Zab 2:2; 10:16; 22:28 16N'abakadde abiri mu bana (24), abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda,#Kub 4:4,10; 7:11 17nga boogera nti,
“Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo,
kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.#Kuv 3:14, Is 41:4, Kub 4:8; 18:8
18Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja,
n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu,
n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu,
n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu;
n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.”#Kub 15:1, Bar 2:5, Zab 2:1,5,12; 46:6; 99:1; 115:13, Am 3:7, Zek 1:6, Dan 9:6,10
19Ne Yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu Yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.#1 Bassek 8:1,6, 2 Byom 5:7, Kuv 9:24; 19:16, Kub 15:5; 4:5
Currently Selected:
Okubikkulirwa 11: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.