YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 33

33
Okutendereza Mukama
1Musanyukire mu Mukama, mmwe abatuukirivu.
Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.#Zab 32:11
2Mumwebaze Mukama n'ennanga:
Mumutendereze n'entongooli ey'enkoba ekkumi.#Zab 71:22; 144:9
3Mumuyimbire oluyimba oluggya,
Mukube entongooli n'amagezi, nga muleekaana olw'essanyu.#Zab 40:3, Is 42:10, Kub 5:9
4Kubanga ekigambo kya Mukama kya mazima,
N'omulimu gwe gwonna gukolebwa na bwesigwa.
5Ayagala obutuukirivu n'amazima:
Ensi ejjudde okwagala kwe okutaggwaawo.#Zab 11:7; 89:14; 119:64
6Mukama yalagira, eggulu ne litondebwa,
Ne byonna ebirimu byakolebwa na kigambo kye.#Lub 1:6,7; 2:1, Is 11:4, Yok 1:1-3, Beb 11:3, 2 Peet 3:5
7Akuŋŋaanya amazzi wamu mu nnyanja,
Ag'ebuziba agateeka mu materekero.#Kuv 15:8, Yos 3:13
8Ensi yonna etyenga Mukama,
Bonna abali mu nsi bamuwenga ekitiibwa.
9Kubanga yayogera ne kikolebwa,
Yalagira ne kinywera.#Lub 1:3, Zab 148:5
10Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga:
Adibya ebirowoozo by'abantu.#2 Sam 15:34; 17:14, Nek 4:15, Is 8:10; 19:3
11Okuteesa kwa Mukama kunyweera ennaku zonna,
N'ebirowoozo bye bibeerera emirembe gyonna.#Nge 19:21, Is 46:10, Bik 4:27,28
12Lya mukisa eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo.
Abantu be yalonda okuba ababe ba mukisa.#Ma 7:6, Zab 144:15
13Mukama asinziira mu ggulu n'alengera,
N'alaba abantu bonna.#2 Byom 16:9, Yob 34:21, Zab 11:4, Beb 4:13
14Asinziira mu ntebe ey'obwakabaka,
N'alaba abali ku nsi bonna.#1 Bassek 8:39,49, Yer 32:19
15Ye yakola emitima gyabwe bonna,
Yekkaanya byonna bye bakola.#Is 64:9
16Kabaka tawangula lwa ggye ddene,
Omutabaazi tawona lwa maanyi ge amangi.#Zab 44:6
17Embalaasi tegasa okuwangula,
Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu.#Zab 20:7, Nge 21:31, Kos 1:7
18Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya,
Ku abo abasuubirira mu kusaasira kwe.#Yob 36:7, Zab 34:15
19Okubawonya okufa,
N'okubakuumanga abalamu mu biseera eby'enjala.#Yob 5:20, Zab 37:19, Bik 12:11
20Tulindirira Mukama,
Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.#Zab 115:9-11, Is 8:17
21Tusanyukira mu ye,
Kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.#Zek 10:7
22Okusaasira kwo, ayi Mukama, kubeerenga ku ffe,
Nga ffe bwe tusuubirira mu ggwe.

Currently Selected:

Zabbuli 33: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in