YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 31

31
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okwewaayo eri Katonda
1 # Zab 71:1-3 Ayi Mukama, ggwe buddukiro bwange,
tondeka kuswala n'akatono,
Ondokole mu butuukirivu bwo.#Zab 11:1; 31:17
2Ontegere okutu kwo, yanguya okundokola.
Beera gye ndi olwazi olw'amaanyi,
ekigo ekya maanyi ondokole.#Zab 71:2; 86:1; 91:2
3Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange;
Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.#Zab 18:2; 23:3, Yer 14:7
4Nzigya mu kyambika ekikwekeddwa kye banteze;
Kubanga ggwe oli kiddukiro kyange.#Zab 25:15; 43:2
5Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo:
Ggwe wannunula, ayi Mukama,
ggwe Katonda omwesigwa.#Ma 32:4, Luk 23:46, Bik 7:59, 1 Peet 4:19
6Okyawa abo abasinza ebifaananyi ebitaliimu,
Naye nze nneesiga Mukama.#Yer 14:22, Yon 2:8
7Nnaasanyukanga, nnaajaguzanga olw'okwagala kwo okutajulukuka,
Kubanga walaba okubonaabona kwange,
N'omanya obuyinike bwange.
8Tewandeka kukwatibwa mulabe,
Wampa eddembe okutambula yonna gye njagala.#Zab 18:19
9Onsaasire, ayi Mukama, kubanga zinsanze!
Amaaso gange gakooye olw'amaziga,
nzigwereddemu ddala amaanyi.#Zab 6:7
10Kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike.
n'emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda.
Amaanyi gange gampweddemu olw'obuyinike bwange,
n'amagumba gange gakozze.#Zab 6:2; 38:3
11Abalabe bange bonna bangaya,
Baliraanwa bange banneenyinyala.
mikwano gyange bantya,
Bwe bandaba mu kkubo, banziruka.#Yob 19:13,14, Zab 88:8
12Nneerabiddwa ng'omufu,
Nfuuse ng'ekibya ekyatise.#Zab 88:5, Mub 9:5
13Kubanga mpulira bangi nga beegeya,
Ensisi ne nnetooloola.
Bwe baali bateesa ebigambo ku nze,
Nga basala amagezi okunzigyako
obulamu bwange.#2 Sam 17:1-4, Yer 20:10, Mat 27:1
14Naye nze nneesiga ggwe, ayi Mukama,
Njogera nti, “Ggwe Katonda wange.”#Zab 31:1,6
15Obulamu bwange buli mu mikono gyo,
Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.#Zab 7:1
16Tunuulira omuddu wo,
Ondokole mu kisa kyo.#Kubal 6:25, Zab 119:135, Dan 9:17
17Tondeka kuswala, ayi Mukama,
kubanga nkoowoola ggwe.
Ababi bakwatibwenga ensonyi,
basirikenga mu magombe.#1 Sam 2:9, Zab 25:2; 31:1; 115:17
18Buniza emimwa gy'abalimba,
Aboogera obubi ku batuukirivu bo,
N'amalala n'okunyooma.#Zab 12:3; 17:10
19Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya,
Bwe wakolera abakwesiga,
mu maaso g'abaana b'abantu!#Is 64:4
20Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu.
Obakuumira aweekusifu, ne bawona okuvumibwa.#Yob 5:21, Zab 27:5; 32:7
21Atenderezebwenga Mukama:
Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.#1 Sam 23:7, Zab 17:7
22Nze n'ayogera nga nnyanguyiriza nti, “Nzikiridde mu maaso go!”
Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.#2 Sam 15:4, Is 38:11,12, Yon 2:4
23Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be:
Mukama awonya abeesigwa,
Naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde.#Ma 32:41, Zab 30:4
24Muddemu amaanyi,
mugume omwoyo,
Mwenna abalina essuubi mu Mukama.#Zab 27:14

Currently Selected:

Zabbuli 31: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in