YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 30

30
Zabbuli; oluyimba Ennyumba bwe yatukuzibwa; Zabbuli ya dawudi.
Okutendereza Katonda olw'obulokozi
1Nnaakugulumizanga, ayi Mukama, kubanga ontaasizza,
N'otoleka balabe bange kunneeyagalirako.#Zab 25:2; 35:19,24
2Ayi Mukama Katonda wange,
Nnakukoowoola onnyambe, naawe n'omponya.#Zab 6:2; 88:13
3Ayi Mukama, wanzigya mu magombe,
Onzizizzaamu obulamu, n'omponya okukka mu bunnya.#Zab 16:10; 28:1
4Muyimbe nga mutendereza Mukama, mmwe abatukuvu be,
Mwebaze erinnya lye ettukuvu.#Zab 50:5; 97:12
5Kubanga obusungu bwe bwa kaseera buseera,
Ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna.
Amaziga gayinza okukulukuta ekiro,
Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.#Zab 103:9, Is 54:7,8
6Nze bwe nali obulungi ne njogera nti,
“Sirisagaasagana n'akatono.”#Zab 10:6, Nge 1:32
7Mu kisa kyo, ayi Mukama,
Wali onnywezezza ng'olusozi.
Naye bwe wanneekisa, ne nneeraliikirira.#2 Sam 24:10, Zab 104:29
8Ne nkukoowoola, ayi Mukama,
Nenkwegayirira onnyambe.#Zab 142:1
9Kale onoogasibwa ki nganfudde, nga nzikiridde emagombe?
Enfuufu eneekutenderezanga?
Eneetegeezanga obwesigwa bwo?#Zab 6:5
10Wulira, ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
Ayi Mukama, beera omubeezi wange.#Zab 27:7
11Ofudde okunakuwala kwange okuzina.
Onzigyeko obuyinike,
n'onzijuza essanyu.#2 Sam 6:14, Yer 31:13
12N'olw'ekyo, nnaayimbanga okukutendereza,
siisirikenga,
Ayi Mukama Katonda wange,
nnaakwebazanga emirembe gyonna.#Zab 16:9

Currently Selected:

Zabbuli 30: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in