Zabbuli 131
131
Oluyimba olw'oku madaala; olwa Dawudi.
Essuubi mu kwagala kwa Katonda
1Ayi Mukama, omutima gwange si gwa malala,
newakubadde amaaso gange tegeegulumiza;
So ssitambulira mu bigambo ebikulu.
Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema.#Yob 42:3, Zab 101:5; 138:6, Yer 45:5, Bar 12:16
2Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza;
Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina,
N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere.#Mat 18:3, 1 Kol 14:20
3Ggwe Isiraeri suubiriranga mu Mukama
Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.#Zab 130:7
Currently Selected:
Zabbuli 131: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.