Zabbuli 125
125
Oluyimba olw'oku madaala.
Katonda ensibuko y'obukuumi bwaffe
1Abeesiga Mukama baliŋŋaanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka,
naye lunywera emirembe gyonna.#Zab 25:2,3, Nge 10:30
2Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be,
Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.#2 Bassek 6:17, Zek 2:5
3Kubanga ababi tebalifuga,
mu nsi ya batuukirivu;
Abatuukirivu balemenga okugolola
emikono gyabwe okukola ebitasaana.
4Obakolenga ebirungi, Ayi Mukama, abalungi,
N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
5Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibeere mu Isiraeri.#Zab 128:6, Nge 2:15, Is 59:8, Bag 6:16
Currently Selected:
Zabbuli 125: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.