YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 124

124
Oluyimba olw'oku madaala; olwa Dawudi.
Katonda ayamba buli kiseera
1Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe,
Isiraeri ayogere kaakano;#Yos 1:5, Zab 94:17, Bar 8:31
2Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe,
Abantu bwe baatugolokokerako,
3Banditumize, nga tukyali balamu,
Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako;#Zab 35:25; 56:1, Yer 51:34
4Amazzi ganditutwalidde ddala,
Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe;#Zab 32:6; 69:1,2
5Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6Mukama yeebazibwe,
Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi;
Omutego gukutuse, naffe tuwonye.#Zab 91:3
8Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
Eyakola eggulu n'ensi.#Zab 121:2, Is 50:10, Beb 13:6

Currently Selected:

Zabbuli 124: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 124