YouVersion Logo
Search Icon

Makko 6

6
Ab'ewa Yesu gyava beewuunya okuyigiriza kwe
(Mat 13:54-58)
1Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja mu nsi y'ewaabwe, ng'ali n'abayigirizwa be. #Mat 13:53-58, Luk 4:15-30 2Awo ku ssabbiiti n'agenda mu kkuŋŋaaniro n'atandika okuyigiriza. Abantu bangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Omusajja ono bino byonna yabiyigira wa? Magezi ki ono ge yaweebwa n'eby'amagero eby'enkanidde wano by'akola? #Yok 7:15 3Si y'ono omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? era ne bannyina tetubeera nabo kuno okwaffe?” Ne bamwesittalako. 4Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi ye waabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.” 5Era teyakolerayo ky'amagero kyonna, okuggyako okussa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya.#Mak 6:13 6Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Awo n'agenda nga ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
Omulimu ebweru wa Ggaliraaya (6:7—8:26)
7Awo Yesu n'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku mwoyo emibi.#Luk 10:1 8N'abalagira obutatwala kintu kyonna gye bagenda okuggyako omuggo gwokka, si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ensimbi mu lukoba. 9Bambale engatto naye tebatwala kkanzu bbiri. 10N'abagamba nti, “Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 11Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, ekitalibawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gyebali.” 12Ne bagenda ne babuulira okwenenya. 13Ne bagoba baddayimooni bangi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.#Yak 5:14,15
Kabaka Kerode alowooza nti Yokaana Omubatiza azuukidde
(Mat 14:1-12, Luk 9:7-9)
14Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yesu lyali lyatiikiridde; n'agamba nti, “Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.”#Luk 3:19,20 15Naye abalala ne bagamba nti, “Ye Eriya.” Abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng'omu ku bannabbi.” 16Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti, “ Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde.” 17Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo gwe yawasa. 18Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “ Si kituufu ggwe okutwala mukazi wa muganda wo.”#Leev 18:16 19Kerodiya n'ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza, 20kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga omuntu omutuukirivu era omutukuvu, n'amwekuuma. Kerode yayagalanga nnyo okuwulira Yokaana by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola. 21Naye olunaku lwali lumu Kerodiya n'afuna oluwenda okutuukiriza kye yali yayagala edda okukola. Olwali olwo Kerode n'afumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'amazaalibwa ge, n'ayita abakungu be n'abakulu b'abaserikale n'abaami bonna abakulu mu Ggaliraaya. 22Awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti, “Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.” 23N'amulayirira nti, “Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange.”#Es 5:3-6 24Awo omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti, “ Nsabe ki?” N'agamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.” 25Awo omuwala amangwago n'addayo eri kabaka, n'amusaba ng'agamba nti, “Njagala ompe kaakano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lutiba.” 26Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya nga baawulira, n'atayagala kumenyawo kigambo kye yali agambye omuwala. 27Kale amangwago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwa Yokaana. N'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera, 28n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. 29Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika mu ntaana.
Yesu atwala abatume okuwummulako
(Luk 9:10)
30Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza.#Luk 9:10; 10:17 31N'abagamba nti, “ Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” Kubanga waaliwo abantu bangi abali bajja gyebali nga n'abalala bagenda, ne babulwa n'akaseera ak'okuliiramu ku mmere. 32Nebalinnya mu lyato bokka ne bagenda mu kifo eteri bantu.#Mat 14:13-21, Luk 9:11-17, Yok 6:1-13
Yesu aliisa abantu enkumi ttaano
(Mat 14:13-21, Luk 9:11-17, Yok 6:1-14)
33Naye abantu bangi ne ba balaba nga bagenda, ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne badduka okwetooloola ku lukalu, ne babasookayo. 34Awo Yesu bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba, n'atandika okubayigiriza ebintu bingi.#Kubal 27:17, Ez 34:5, Mat 9:36 35Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise:#Mak 8:1-9 36basiibule, bagende mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano bagende beegulire emmere.” 37Naye n'addamu, n'abagamba nti, “Mmwe mubawe emmere.” Ne bamugamba nti, “ Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri (200) tugibawe balye?” 38N'abagamba nti, “ Mulina emigaati emeka?” Mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti, “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.” 39N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo. 40Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi (100), n'ataano (50). 41N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna.#Mak 7:34 42Ne balya bonna ne bakkuta. 43Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw'emigaati n'obw'ebyennyanja ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12). #Ma 28:5 44Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano (5,000).
Yesu atambulira ku mazzi
(Mat 14:22-33, Yok 6:15-21)
45Amangwago Yesu n'agamba abayigirizwa be basaabale mu lyato, bawunguke bagende emitala w'ennyanja e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina.#Mat 14:22-36, Yok 6:15-21 46Awo bwe yamala okubasiibula, n'agenda ku lusozi okusaba. 47Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu. 48Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka ekyokuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: 49naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba; 50kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Mugume omwoyo, nze nzuuno, temutya.” 51N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo. #Mak 4:39 52Tebategeera eby'emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
Yesu awonya abalwadde e Genesaleeti
(Mat 14:34-36)
53Awo bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba ettale. 54Awo bwe baava mu lyato, amangwago abantu ne bamutegeera, 55ne badduka ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batandika okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga wali. 56Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona.#Mak 5:27,28, Bik 5:15; 19:11,12

Currently Selected:

Makko 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy