YouVersion Logo
Search Icon

Makko 5

5
Yesu awonya omusajja eyaliko badayimooni
(Mat 8:28-34, Luk 8:26-39)
1Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene.#Mat 8:28-34, Luk 8:26-40 2Bwe yava mu lyato, amangwago omuntu eyaliko omwoyo omubi naava mu malaalo najja n'amusisinkana. 3Omusajja ono yasulanga mu malaalo, nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere, 4kubanga emirundi mingi baagezangako okumussa mu masamba, n'okumusiba mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya. Ne wataba muntu wa maanyi asobola okumunyweza. 5Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu malaalo ne ku nsozi, era nga bwe yeesalaasala n'amayinja. 6Awo bwe yalengera Yesu ng'akyali wala ko n'adduka n'atuuka awali Yesu n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene 7ng'agamba nti, “Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza.”#Mak 1:24 8Kubanga Yesu yali amaze okugamba nti, “Va ku muntu ono, ggwe omwoyo omubi.” 9Awo Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'addamu nti, “Erinnya lyange nze Liigyoni; kubanga tuli bangi.” 10N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo. 11Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nnyo nga zirya. 12N'amwegayirira, ng'amugamba nti, “tusindike mu mbizzi tuziyingiremu.” 13Yesu n'akkiriza. Awo emyoyo emibi ne giva mu musajja ne giyingira mu mbizzi. Awo eggana ly'embizzi lyonna ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga ne lyeyiwa mu nnyanja. Embizzi zonna ezaali nga enkumi bbiri (2,000), ne zifiira mu nnyanja. 14Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri. 15Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko baddayimooni abangi ng'atudde, ng'ayambadde era ng'ategeera bulungi, ne batya nnyo. 16Abo abaalaba ebyaliwo ne babannyonnyola ebyali bituuse ku musajja oyo eyaliko dayimooni, era ne ku mbizzi. 17Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe. 18Awo bwe yali ng'alinnya mu lyato okugenda, omusajja eyaliko baddayimooni n'amwegayirira agende naye. 19Naye Yesu n'agaana, n'amugamba nti, “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.” 20Awo omusajja n'agenda, n'atandika okutegeeza abantu mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.#Mak 7:31, Mat 4:25
Yayiro yeegayirira Yesu awonye muwala we
(Mat 9:8,19, Luk 8:41,42)
21Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali ku lubalama lw'ennyanja.
22Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, bwe yalaba Yesu n'ajja n'avuunama ku bigere bye,#Mat 9:18-26, Luk 8:41-56 23n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti, “ Muwala wange omuto abulako katono okufa, nkwegayirira jjangu omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.”#Mak 7:32 24Awo Yesu n'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera nga kigenda kimunyigiriza.
Yesu awonya omukazi w'ekikulukuto ky'omusaayi
(Mat 9:20-22, Luk 8:43-48)
25Awo mu kibiina ekyo mwalimu omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12). 26Yali yeewubye ennyo mu basawo bangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala. 27Bwe yawulira ebigambo bya Yesu, bw'atyo n'ajja nga yeenyigiriza mu kibiina n'atuuka emabega wa Yesu n'akoma ku kyambalo kye. 28Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona.” 29Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi n'ekikalira, n'awulira mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa obulwadde bwe. 30Amangwago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'abuuza nti, “Ani akomye ku byambalo byange?”#Luk 6:19 31Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankomyeko?’32Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo amukutteko. 33Naye omukazi bwe yamanya ekimutuseeko, n'ajja eri Yesu ng'atidde nnyo era ng'akankana, n'agwa mu maaso ge, n'amubuulira amazima gonna. 34Yesu n'amugamba nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe, owonere ddala obulwadde bwo.”
Muwala wa Yayiro awonyezebwa
(Mat 9:23-26, Luk 8:49-56)
35Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?” 36Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.” 37Awo Yesu n'agaana abalala bonna okugenda naye okuggyako Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo. 38Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi. 39Awo bwe yayingira n'abagamba nti, “Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? Omuwala tafudde, naye yeebase bwe basi!”#Yok 11:11 40Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n'abagamba bonna bafulume mu nju. N'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abayigirizwa abaali naye, n'ayingira nabo mu kisenge omuwala mwe yali. 41Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti, “Talisa kkumi;” ekitegeeza nti, “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.”#Luk 7:14 42Amangwago omuwala n'agolokoka, n'atambula. Omuwala oyo yali aweza emyaka kkumi n'ebiri (12). Amangwago abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. 43Yesu n'abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n'alagira okuwa omuwala eky'okulya.#Mak 1:44

Currently Selected:

Makko 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in