YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 51

51
1Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu,
mmwe abanoonya Mukama;
mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
n'ekirombe ky'amayinja mwe mwasimibwa.
2Mutunuulire Ibulayimu jjajjammwe
ne Saala eyabazaala;
kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita
ne mmuwa omukisa ne mmwaza#Ez 33:24
3Kubanga Mukama alisanyusa Sayuuni;
alisanyusa ebifo bye byonna ebyazika
n'afuula olukoola lwe okuba nga Edeni
n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama;
essanyu n'okujaguza birirabikira omwo,
okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.#Lub 2:8; 13:10, Is 35:10
4Mumpulirize, mmwe abantu bange;
era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange;
kubanga etteeka lirifuluma gye ndi,
obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.#Zab 78:1, Is 2:3
5Obutuukirivu bwange buli kumpi,
obulokozi bwange bufulumye,
n'emikono gyange girisalira amawanga emisango
ebizinga birinnindirira,
n'omukono gwange gwe biryesiga.#Is 46:13
6Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
era mutunuulire ensi wansi;
kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka,
n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo,
n'abo abagituulamu balifa bwe batyo;
naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna,
so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.#Mat 24:35, 2 Peet 3:10, Kub 21:1
7Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu,
eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe,
temutyanga kuvuma kw'abantu,
so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.#Zab 37:31, Mat 10:28
8Kubanga ennyenje eribaliira ddala nga bwerya ekyambalo,
n'enkuyege eribalya nga bwerya ebyoya by'endiga;
naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna,
n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
9Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi,
ggwe omukono gwa Mukama;
zuukuka nga mu nnaku ez'edda,
mu mirembe egy'ebiro eby'edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu,
eyafumita ogusota?#51:9 Lakabu wano gulowoozebwa okuba ogusolo ogw'omunyanja, akaali akabonero akalaga emitawaana oba akabi. Oluusi kyakozesebwanga okulaga Misiri.#Zab 44:1; 89:10, Is 27:1; 52:1, Luk 1:51
10Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,
amazzi ag'obuziba obuwanvu;
eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo
abaanunulibwa okusomokeramu?#Kuv 14:21
11N'abo Mukama be yagula balikomawo
ne bajja e Sayuuni nga bayimba;
n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe;
balifuna essanyu n'okujaguza,
ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
12Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa;
ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa,
n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;#Zab 118:6, Is 40:1,6; 66:13
13ne weerabira Mukama omutonzi wo,
eyabamba eggulu,
n'ateekawo emisingi gy'ensi;
n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya
olw'obukaali bw'omujoozi,
bwe yeeteekateeka okuzikiriza?
era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
14Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu;
so talifa kukka mu bunnya,
so n'emmere ye teribula.#Is 45:13
15Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo
asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma;
Mukama ow'eggye lye linnya lye.#Yer 31:35
16Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
era nkubisse mu kisiikirize ky'omukono gwange,
ndyoke nsimbe eggulu
ne nteekawo emisingi gy'ensi
ne ŋŋamba Sayuuni nti, “muli bantu bange.”#Is 49:2; 59:21
17Zuukuka, zuukuka,
yimirira, ggwe Yerusaalemi,
eyanywera mu mukono gwa Mukama
ku kikompe eky'obusungu bwe;
wanywa n'omaliramu ddala
ekikompe eky'okutagatta.#Is 52:1, Yer 25:15, Zek 12:2, Mat 20:22, Mak 14:36
18Ku baana bonna be yazaala
tekuli wa kumukulembera;
so tekuli amukwata ku mukono
ku baana bonna be yalera.#Zab 74:9
19Bino byombi bikuguddeko;
ani alikukaabirako?
Okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala;
ani anaakusanyusa?
20Batabani bo bazirise,
bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka,
ng'engabi mu kitimba;
babuutikiddwa obusungu bwa Mukama,
n'okunenya kwa Katonda wo.#Kung 2:11,12
21Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa,
atamidde naye si na mwenge,#Is 54:11
22bw'atyo bw'ayogera Mukama wo
Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be,
nti Laba, nzigye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta,
kye kikompe eky'obusungu bwange;
tolikinywako nate;#Yer 50:34
23era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya;
abaabagamba nti, “ Mugwe wansi tubatambulireko,”
naawe n'oteekawo omugongo gwo okuba ng'ettaka
era okuba ng'oluguudo eri abo abayitako.#Is 47:6; 52:2, Yer 25:17,26,28

Currently Selected:

Isaaya 51: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in