Abakkolosaayi 3:12-15
Abakkolosaayi 3:12-15 LBR
Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga. Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.