1 Abasessaloniika 2
2
Omulimu Gwa Pawulo mu Sessaloniika
1Kubanga mmwe mwennyini ab'oluganda, mumanyi ng'okukyala kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere.#1 Bas 1:5,9, 2 Bas 3:7 2Newakubadde nga twali tumaze okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, twagumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kuwakanyizibwa okungi.#Bik 16:20-24; 17:1-5 3Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so tekukolebwa mu bukuusa; 4naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe.#Yer 11:20, Bag 1:10, 1 Tim 1:11 5Kubanga tetukozesanga wadde bigambo bya kubawaanawaana, nga bwe mumanyi, oba okukisa okwegomba kwaffe, Katonda ye mujulirwa.#Bik 20:33, Mak 12:40, 2 Peet 2:3 6Tetunoonyanga kitiibwa okuva eri abantu, oba mmwe, wadde okuva eri abalala, newakubadde twandiyinzizza okukibasaba ng'abatume ba Kristo.#Yok 5:41,44 7Naye twali bawombeefu mu mmwe, nga maama bw'alabirira abaana be. 8Olw'okubalumirwa omwoyo bwe tutyo, twetegeka okugabana nammwe si njiri ya Katonda yokka, naye era n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo. 9Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana, bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.#1 Kol 4:12, Bik 20:34 10Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kya kunenyezebwa mu mpisa zaffe eri mmwe abakkiriza. 11Mumanyi nga taata bwaba n'abaana be, naffe bwe twali nammwe, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tubakubiriza,#Bik 20:31 12mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.#Bef 4:1, Baf 1:27, 2 Bas 1:5, 1 Peet 5:10
13Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda, kye mwawulira okuva gyetuli, mwakikkiriza si ng'ekigambo ekya bantu, naye nga ddala kiri ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.#1 Bas 1:2, Bag 1:11, 2 Bas 2:13 14Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwafaanana ekkanisa za Katonda Kristo Yesu eziri mu Buyudaaya, kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya; 15abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era naffe abaatugoba, ne banyiiza Katonda, era balabe b'abantu bonna.#Bik 2:23; 7:52 16Era baatuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo ne bongera ku bibi byabwe eby'edda, naye obusungu bwa Katonda bubatuuseeko ku nkomerero.#Lub 15:16, Mat 23:32,33
Pawulo ayagala okuddamu okubakyalira
17Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo,#Bar 1:11,13 18kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogwolubereberye era n'ogwokubiri; naye Setaani n'atuziyiza. 19Kubanga essuubi lyaffe, oba essanyu lyaffe, oba ngule ki ey'okwenyumiriza kwaffe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? Si ye mmwe?#Baf 2:16; 4:1, 2 Bas 1:4 20Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu lyaffe.
Currently Selected:
1 Abasessaloniika 2: LBR
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapi.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.