1
ENTANDIKWA 25:23
Luganda DC Bible 2003
Mukama n'agamba nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. Olizaala ebika bibiri ebyawukanye. Ekimu kinaasinzanga ekirala amaanyi, omukulu ye anaaweerezanga omuto.”
Compare
Explore ENTANDIKWA 25:23
2
ENTANDIKWA 25:30
N'agamba Yakobo nti: “Enjala enzita! Mpa ndye ku mugoyo ogwo omumyufu.” Kyebaava bamuyita Edomu.
Explore ENTANDIKWA 25:30
3
ENTANDIKWA 25:21
Yisaaka ne yeegayirira Mukama ku lwa mukazi we, kubanga Rebbeeka yali mugumba. Mukama n'awulira okwegayirira kwe, Rebbeeka n'aba olubuto.
Explore ENTANDIKWA 25:21
4
ENTANDIKWA 25:32-33
Esawu n'agamba nti: “Nzuuno mbulako katono okufa. Obukulu bulingasa ki?” Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira kaakano nti obukulu bwo obunguzizza.” Esawu n'amulayirira, n'aguza Yakobo obukulu bwe.
Explore ENTANDIKWA 25:32-33
5
ENTANDIKWA 25:26
Oluvannyuma n'owookubiri n'afuluma, ng'omukono gwe gukutte ku kisinziiro kya Esawu. Ne bamutuuma erinnya Yakobo. Rebbeeka yabazaala nga Yisaaka awezezza emyaka nkaaga.
Explore ENTANDIKWA 25:26
6
ENTANDIKWA 25:28
Yisaaka yasinga kwagala Esawu, kubanga yalyanga ku nsolo Esawu ze yayigganga. Naye Rebbeeka yasinga kwagala Yakobo.
Explore ENTANDIKWA 25:28
Home
Bible
Plans
Videos