1
ENTANDIKWA 24:12
Luganda DC Bible 2003
N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, nkusaba ompe omukisa mu bye nnaakola olwaleero, era okolere mukama wange Aburahamu eby'ekisa.
Compare
Explore ENTANDIKWA 24:12
2
ENTANDIKWA 24:14
Kale omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo, ompe ku mazzi nnywe,’ n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera ne zinywa,’ nga ye oyo gw'olondedde omuweereza wo Yisaaka. Ekyo kwe nnaategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
Explore ENTANDIKWA 24:14
3
ENTANDIKWA 24:67
Awo Yisaaka n'aleeta Rebbeeka mu weema eyali eya Saara nnyina, n'amufuula mukazi we. Yisaaka n'ayagala Rebbeeka, bw'atyo n'akubagizibwa olwa nnyina gwe yafiirwa.
Explore ENTANDIKWA 24:67
4
ENTANDIKWA 24:60
Ne basabira Rebbeeka omukisa, ne bagamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina w'abantu nkumi na nkumi. Ne bazzukulu bo bawangulenga ebibuga by'abalabe baabwe.”
Explore ENTANDIKWA 24:60
5
ENTANDIKWA 24:3-4
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nti toliwasiza mwana wange mukazi ava mu bantu ba wano mu Kanaani, be mbeeramu. Naye ogendanga mu nsi gye nazaalibwamu, era mu baganda bange, n'owasiza omwana wange Yisaaka omukazi.”
Explore ENTANDIKWA 24:3-4
Home
Bible
Plans
Videos