1
ENTANDIKWA 26:3
Luganda DC Bible 2003
“Beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa. Ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo, ebitundu bino byonna eby'ensi. Nnaatuukirizanga ekirayiro, kye nalayirira kitaawo Aburahamu.
Compare
Explore ENTANDIKWA 26:3
2
ENTANDIKWA 26:4-5
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu era ndibawa ebitundu bino byonna eby'ensi. Era mu bazzukulu bo, amawanga gonna ku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga Aburahamu yawuliranga bye namukuutiranga, era yakwatanga amateeka gange gonna n'ebiragiro byange.”
Explore ENTANDIKWA 26:4-5
3
ENTANDIKWA 26:22
N'ajjulukukayo, n'asima oluzzi olulala. Olwo lwo ne batalukaayanira, n'alutuuma erinnya Rehoboti. N'agamba nti: “Kaakano Mukama atugaziyizza, tujja kwala mu nsi.”
Explore ENTANDIKWA 26:22
4
ENTANDIKWA 26:2
Mukama n'alabikira Yisaaka, n'agamba nti: “Toserengeta mu Misiri, sigala mu nsi eno, gye nakugamba okubeeramu.
Explore ENTANDIKWA 26:2
5
ENTANDIKWA 26:25
Yisaaka n'azimba eyo alutaari, n'asinza Mukama. N'asimbayo eweema ye, era abasajja be ne basimayo oluzzi.
Explore ENTANDIKWA 26:25
Home
Bible
Plans
Videos