ENTANDIKWA 9
9
Katonda akola ne Noowa endagaano
1Katonda n'awa Noowa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale nnyo, mweyongere obungi, mujjuze ensi.#Laba ne Nta 1:28 2Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Biteekeddwa mu buyinza bwammwe. 3Byonna munaabiryanga. Mbibawadde, nga bwe n'abawa ebimera byonna, bibeerenga emmere yammwe. 4Naye kye mutaalyenga ye nnyama ekyalimu omusaayi, kubanga obulamu buli mu musaayi.#Laba ne Leev 7:26-27; 17:10-14; Leev 19:26; Ma 12:16,23 15:23 5Nnaabonerezanga buli asaanyaawo obulamu bw'omuntu. Ekibonerezo kye nnaawanga ensolo esse omuntu, kya kuttibwa. 6Buli atta omuntu, naye anattibwanga abantu, kubanga omuntu yatondebwa ng'afaanana Katonda.#Laba ne Nta 1:26; Kuv 20:13 7Era mmwe muzaale nnyo, mube n'abaana bangi ku nsi, mugibune.”#Laba ne Nta 1:28
8Katonda n'agamba Noowa n'abaana be nti: 9“Kaakano nkola endagaano nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo, 10na buli kitonde kyonna ekiramu, ensolo n'ebibuuka mu bbanga, era na buli kiramu kyonna ekivudde nammwe mu lyato. 11Nkola nammwe endagaano nti sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna na mujjuzo gwa mazzi. Omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza nsi.”
12Katonda era n'agamba nti: “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: 13ntadde musoke ku bire, ye anaabanga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi. 14Bwe nnaaleetanga ebire ku ggulu musoke n'alabika, 15nnajjukiranga endagaano gye nkoze nammwe, era na buli kitonde ekiramu, nti omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi. 16Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamulabanga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiri ku nsi. 17Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.”
Noowa n'abaana be
18Abaana ba Noowa abaafuluma okuva mu lyato, ye Seemu ne Haamu ne Yafeeti. Haamu ye kitaawe wa Kanaani. 19Abaana ba Noowa abo abasatu, be baasibukamu abantu bonna ku nsi.
20Noowa yali mulimi, era ye muntu eyasooka okulima ennimiro y'emizabbibu. 21Bwe yanywa ku mwenge gw'emizabbibu, n'atamiira, n'agalamira mu weema ye ng'ali bwereere. 22Haamu, kitaawe wa Kanaani, bwe yalaba kitaawe ng'ali bwereere, n'agenda abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23Awo Seemu ne Yafeeti ne bakwata olugoye, ne balutwalira ku bibegabega byabwe. Ne bayingira mu weema nga batambula kyennyumannyuma, ne babikka kitaabwe, nga batunudde ebbali, baleme kulaba kitaabwe ng'ali bwereere. 24Noowa bwe yaddamu okutegeera, ng'omwenge gumuvuddeko, n'amanya mutabani we asinga obuto kye yamukola, 25n'agamba nti:
“Kanaani akolimirwe!
Anaabanga muddu wa baganda be.”
26Era n'agamba nti:
“Mukama Katonda wange
awe Seemu omukisa.#9:26 Oba “Mukama Katonda wa Seemu atenderezebwe.”
Kanaani anaabanga muddu wa Seemu.
27Katonda ayaze Yafeeti!
Bazzukulu be babeerenga wamu
n'aba Seemu
Kanaani anaabanga muddu wa Yafeeti.”
28Omujjuzo gw'amazzi nga guwedde, Noowa yawangaala emyaka ebikumi bisatu mu ataano. 29N'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano.
Seçili Olanlar:
ENTANDIKWA 9: LB03
Vurgu
Paylaş
Kopyala
Önemli anlarınızın tüm cihazlarınıza kaydedilmesini mi istiyorsunuz? Kayıt olun ya da giriş yapın
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.