Lukka 3

3
Okwetegekera Yesu
(3:1—4:13)
Yokaana Omubatiza
(Mat 3:1-12, Mak 1:1-8, Yok 1:19-28)
1Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogw'obufuzi bwa Kayisaali Tiberiyo, nga Pontiyo Piraato ye w'essaza ly'e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y'afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y'afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yali nga y'afuga Abireene; 2ne Ana ne Kayaafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu. 3N'ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi;#Mat 3:1-12, Mak 1:1-8 4nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, #Is 40:3-5
“Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti
Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge.
5Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa:
N'ekikyamye kirigololwa,
N'amakubo agatali masende galitereezebwa;
6N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”#Bik 28:28
7Awo Yokaana n'agamba ebibiina ebyafulumanga okujja gyali okubatizibwa nti, “ Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?#Mat 23:33, Yok 3:36 8Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana. 9Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.” 10Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti, “ Kale tukole ki?” 11N'addamu n'abagamba nti, “ Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere naye akole bw'atyo.” 12N'abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza tukole ki?” 13N'abagamba nti, “Temusoloozanga kusukkiriza okusinga ekyo kye mwalagirwa.” 14Era n'abasserikale nabo ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Naffe tukole ki?” N'abagamba nti, “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawayirizanga misango gye batazziza. Empeera yammwe ebamalenga.”
15Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza mu mitima gyabwe nti oba oli awo Yokaana ye Kristo.#Yok 1:19-28 16Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti, “ Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula buguwa bwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.#Bik 13:25 17Olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n'okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.”
18Era n'ababuulirira n'ebirala bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebirungi. 19Era Yokaana yanenya Kerode owessaza, olwa Kerodiya muka muganda we, n'olw'ebigambo ebibi byonna Kerode bye yakola.#Mat 14:3,4, Mak 6:17,18 20Ate ku ebyo byonna Kerode n'ayongerako kino, n'akwata Yokaana n'amussa mu kkomera.
Okubatizibwa kwa Yesu
(Mat 3:13-17, Mak 1:9-11)
21Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka, 22Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nga ligamba nti, “ Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.”
Olulyo lwa Yesu
(Mat 1:1-17)
23 # Mat 1:1-17 Era Yesu yennyini, yatandika okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'asatu (30), era nga bwe yalowoozebwa nga ye mwana wa Yusufu, mwana wa Eri,#Luk 4:22 24mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu, 25mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakkumu, mwana wa Esuli, mwana wa Naggayi, 26mwana wa Maasi, mwana wa Mattasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda, 27mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubbaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri,#1 Byom 3:17, Ezer 3:2 28mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, 29mwana wa Yoswa, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, 30mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yonamu, mwana wa Eriyakimu, 31mwana wa Mereya, mwana wa Menna, mwana wa Mattasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi,#1 Sam 16:1,13, 2 Sam 5:14 32mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni, mwana wa Nakusoni,#Luus 4:22 33mwana wa Amminadaabu, mwana wa Aluni, mwana wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda,#1 Byom 2:1-5, Lub 29:35 34mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli,#Lub 21:2,3; 11:10-26, 1 Byom 1:24,27 35mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera, 36mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameka,#Lub 5:3-32, 1 Byom 1:1-4, Lub 4:25; 11:10 37mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleri, mwana wa Kayinaani, 38mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda.#Lub 5:1-3

Айни замон обунашуда:

Lukka 3: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy