Amas 6
6
1Abantu bwe baamala okwala ku nsi, nga bazadde n'abawala, 2batabani ba Katonda ne balaba bawala b'abantu nga babalagavu, ne beefunira mu bo abakazi okuva mu bonna be baalondanga. 3Katonda n'agamba nti: “Omwoyo gwange tegulisigala mu muntu mirembe gyonna, kubanga mubiri bubiri; ennaku ze ziriba myaka kikumi mu abiri.” 4Mu biseera ebyo, era ne mu biseera ebyaddirira batabani ba Katonda okwewasiza bawala b'abantu#6,4 Abawandiisi abakulu ab'Ekleziya batabani ba Katonda baategeerangamu bazzukulu ba Seti, ate bawala b'abantu ne babategeeramu bazzukulu ba Kayini. Okuwasaŋŋana kuno yali nsobi, obumu ku bugwenyufu obwaleesa omujjuzi. ne babazaalira abaana, ku nsi kwaliko Banefili; be baabo abantu abazira abatutumufu ab'emirembe egy'edda.
C. OMUJJUZI
Okwonooneka kw'oluse lw'abantu
5Omukama yalaba ng'obwonoonefu bw'omuntu bungi mu nsi, nga na buli kirowoozo kya mutima gwe kyewunzikidde ku kibi kyokka obudde bwonna, 6Omukama ne yeenenya olw'okukola omuntu mu nsi, n'anyolwa mu mutima, 7n'agamba nti: “Nzija kuzikiriza omuntu gwe natonda, mmusaanyewo ku nsi, ye n'ebisolo, n'ebyewalula, ssaako ebinyonyi eby'omu bbanga; kubanga nnyoleddwa okulaba nga nabikola.” 8Naye Nowa yasanga ekisa mu maaso g'Omukama.
9Kino kye kifaayo kya Nowa: Nowa yali musajja mutuukirivu nga taliiko musango mu bantu b'omulembe gwe; yatambuliranga mu Katonda. 10Yazaala abaana basatu ab'obulenzi: Seemu, Kaamu ne Yafesi. 11Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda, nga yonna ejjudde obukambwe. 12Katonda yalaba ng'ensi eyonoonese, kubanga buli muntu ku nsi yali mwonoonefu mu neeyisa ye.
13Katonda n'agamba Nowa nti: “Nsazeewo, enkomerero ya buli muntu etuuse, kubanga ensi ejjudde obukambwe olw'abantu, nze nno ŋŋenda kubazikiriza wamu n'ensi. 14Weekolere ekyombo mu muti ogw'envumbo; mu kyombo ojja kukolamu ebisenge obisiige envumbo munda ne kungulu. 15Bw'oti bw'onookikola: obuwanvu bw'ekyombo bubeeere emikono ebikumi bisatu, obugazi, emikono amakumi ataano, ate obusimba bwakyo, emikono amakumi asatu. 16Ekyombo kikolere akasolya akasukkulumye ku kyo omukono gumu. Ojja kuteeka omulyango mu mbiriizi zaakyo era okikolemu ebitindiro bisatu: ekisooka ekya wansi, ekyokubiri eky'omu makkati n'ekyokusatu ekya waggulu.
17 #
2 Pet 2,5. “Nze ŋŋenda okuleeta amazzi g'omujjuzi ku nsi, nzite buli kintu ekiramu wansi w'eggulu, buli kyonna ekiri ku nsi kijja kusaanawo. 18Nzija kukola endagaano naawe, ggwe ojja kuyingira ekyombo, ggwe ne batabani bo, ne mukazi wo, ne bakaabaana bo bayingire naawe. 19Ate ku buli kiramu kyonna okuva mu buli nsolo, oggyangako bibiri n'obiyingiza mu kyombo, biramire omwo naawe, ekisajja n'ekikazi. 20Ne ku buli kika kya nnyonyi, ne ku buli kika kya nsolo, ne ku buli kika kya kyewalula ku ttaka: bibiri ku buli kika biyingire eyo gy'oli, biryoke birame. 21Ate ggwe weetwalire ku buli kika kya mmere ekiriibwa, weeterekere; y'eriba emmere yo nabyo.” 22Nowa n'akolera ddala byonna nga Katonda bwe yali abimulagidde.
Iliyochaguliwa sasa
Amas 6: BIBU1
Kuonyesha
Shirikisha
Nakili
Je, ungependa vivutio vyako vihifadhiwe kwenye vifaa vyako vyote? Jisajili au ingia
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.