Olubereberye 11
11
1N'ensi zonna zaalina olulimi lumu n'enjogera emu. 2#Dan 1:2Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo. 3Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni. 4#Ma 1:28Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna. 5#Lub 18:21Mukama n'akka okulaba ekibuga n'ekigo, abaana b'abantu bye bazimba. 6Mukama n'ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna balina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 7#Lub 1:26; 3:22, Is 6:8Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka. 8Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. 9Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
10 #
1 Byom 1:17-27
Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n'azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo: 11Seemu n'awangaala bwe yamala okuzaala Alupakusaadi emyaka bitaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12Alupakusaadi n'amala emyaka asatu mu etaano, n'azaala Seera: 13Alupakusaadi n'awangaala bwe yamala okuzaala Seera emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14Seera n'amala emyaka asatu, n'azaala Eberi: 15Seera n'awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16Eberi n'amala emyaka asatu mu ena, n'azaala Peregi: 17Eberi n'awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18Peregi n'amala emyaka asatu, n'azaala Leewo: 19Peregi n'awangaala bwe yamala okuzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20Leewo n'amala emyaka asatu mu ebiri, n'azaala Serugi; 21Leewo n'awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22Serugi n'amala emyaka asatu, n'azaala Nakoli: 23Serugi n'awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli emyaka bibiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24Nakoli n'amala emyaka abiri mu mwenda, n'azaala Teera: 25Nakoli n'awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26 #
Yos 24:2
Teera n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.
27Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti. 28Kalani n'afiira awali kitaawe mu nsi mwe yazaalirwa, mu Uli, y'ensi ey'Abakaludaaya. 29#Lub 17:15; 22:20Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n'omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa Isika. 30Era Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. 31#Lub 15:7, Nek 9:7, Bik 7:4Teera n'atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzukulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w'omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey'Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani ne batuula eyo. 32N'ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Tera n'afiira mu Kalani.
Nu markerat:
Olubereberye 11: LUG68
Märk
Dela
Kopiera
Vill du ha dina höjdpunkter sparade på alla dina enheter? Registrera dig eller logga in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.